Add parallel Print Page Options

(A)Nasani n’addamu Dawudi nti, “Ky’olowooza kyonna mu mutima gwo kikole, kubanga Katonda ali wamu naawe.”

Read full chapter

(A)N’agamba Nasani nnabbi nti, “Laba ntudde mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye essanduuko ya Katonda eri mu weema.”

Read full chapter

17 (A)“Era kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama, Katonda wa Isirayiri yeekaalu.

Read full chapter

(A)Mmwe munoonyanga mu bika byammwe byonna, ekifo Mukama Katonda wammwe ky’alibalondera we munaateekanga Erinnya lye ne mumuzimbira awo ennyumba ye ey’okubeerangamu. Mu kifo ekyo gye munaagendanga okumusinza;

Read full chapter

11 (A)kale nno, mu kifo ekyo Mukama Katonda wammwe kyanaabanga yeerondedde okutuuzanga omwo Erinnya lye, omwo mwe munaaleetanga buli kintu kyonna kye mbalagira: ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’ebirabo ebisinga obulungi mu bintu byammwe bye munaabanga mweyamye okuwaayo eri Mukama.

Read full chapter