Add parallel Print Page Options

Kaana Awonga Samwiri

21 (A)Awo Erukaana n’ayambuka n’ab’ennyumba ye okugenda okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda n’okutuukiriza obweyamo bwe.

Read full chapter

Amateeka ku Mbaga Enkulu Essatu eza Buli Mwaka

14 (A)“Ononkoleranga embaga emirundi esatu buli mwaka.

Read full chapter

23 (A)Abasajja bonna mu mmwe banaalabikanga awali Mukama Katonda, Katonda wa Isirayiri, emirundi esatu mu buli mwaka.

Read full chapter

41 (A)Bakadde ba Yesu buli mwaka bagendanga mu Yerusaalemi ku Mbaga y’Okuyitako.

Read full chapter

(A)Mmwe munoonyanga mu bika byammwe byonna, ekifo Mukama Katonda wammwe ky’alibalondera we munaateekanga Erinnya lye ne mumuzimbira awo ennyumba ye ey’okubeerangamu. Mu kifo ekyo gye munaagendanga okumusinza; (B)awo we munaaleetanga ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ne biweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’obweyamo bwammwe, n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire, n’ebibereberye eby’omu bisibo byammwe n’eby’omu biraalo byammwe. (C)Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze n’emikono gyammwe, kubanga Mukama Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa.

Read full chapter

Okugabana Ettaka eryali Lisigaddewo

18 (A)Ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu Siiro[a] ne basimba eyo Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Ensi yali mu mikono gyabwe,

Read full chapter

Footnotes

  1. 18:1 Siiro Kyali kilomita ng’amakumi ana okuva e Yerusaalemi. Kyali kifuuse kibuga kya byabufuzi ate nga ky’ekifo ekikulu awasinzibwa mu Isirayiri. Eweema ya Mukama yasigala mu Siiro okutuusa mu biro bya Samwiri (1Sa 4:1-11) lwe yaggyibwayo n’etwalibwa e Gibyoni (1By 21:29).