Add parallel Print Page Options

(A)Nzuuno mu maaso gammwe. Munnumirize ensonga yonna mu maaso ga Mukama ne mu maaso g’oyo gwe yafukako amafuta. Ani gwe nnali ntwalidde ente ye? Oba ani gwe nnali ntwalidde endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nnali njooze? Oba ani gwe nnali nsabye enguzi? Bwe wabaawo anvunaana mu nsonga yonna nzija kumuliyira.”

Read full chapter

35 (A)Awo kabaka n’afuula Benaya mutabani wa Yekoyaada omukulu w’eggye mu kifo kya Yowaabu, n’afuula ne Zadooki kabona mu kifo kya Abiyasaali.

Read full chapter

13 (A)Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama.

Read full chapter

11 (A)okuva lwe nalonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Era ndikuwa ebiseera eby’emirembe abalabe bo baleme okukuyigganya.

“ ‘ “Mukama akugamba nti Mukama Katonda yennyini, alinyweza ennyumba yo.

Read full chapter

27 “Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ekyo okibikkulidde omuddu wo ng’ogamba nti, ‘Ndikuzimbira ennyumba,’ omuddu wo kyavudde ayaŋŋanga okuwaayo okusaba okwo gy’oli.

Read full chapter

38 (A)Bw’onoogonderanga byonna bye nkulagira n’otambuliranga mu makubo gange, era n’okolanga ebituufu mu maaso gange ng’okugonderanga ebiragiro n’amateeka gange, nga Dawudi omuddu wange bwe yakola, nnaabeeranga naawe. Ndikukolera ekika eky’enkalakkalira, nga kye nakolera Dawudi, era ndikuwa ne Isirayiri.

Read full chapter