Add parallel Print Page Options

17 (A)Ebibumbe eby’ebizimba ebya zaabu Abafirisuuti bye baaweereza ng’ekiweebwayo olw’omusango eri Mukama byali: ekimu kya Asudodi, n’ekirala kya Gaza, n’ekirala kya Asukulooni, n’ekirala kya Gaasi, n’ekirala kya Ekuloni; 18 era n’ebibumbe eby’emmese eza zaabu bwe byali, ng’ebibuga byonna eby’Abafirisuuti ebyali eby’Abakungu abataano, ate nga bibuga ebiriko enkomera n’ebyalo byabyo. Ejjinja eddene kwe baateeka essanduuko ya Mukama mu nnimiro ya Yoswa ow’e Besusemesi, ne libeera kijjukizo n’okutuusa leero.

Read full chapter

(A)okuva ku mugga Sikoli oguli ebuvanjuba wa Misiri, n’okwambukira ddala ku nsalo y’e Ekuloni emanyiddwa nga ey’Abakanani, eriyo abafuzi bataano ab’Abafirisuuti, ow’e Gaza, n’ow’e Asudodi, n’ow’e Asukulooni, n’ow’e Gaasi n’ow’e Ekuloni awamu n’Abavi.

Read full chapter

(A)Ge gano: Abakungu abataano ab’Abafirisuuti, Abakanani bonna, Abasidoni, n’Abakiivi abaabeeranga ku lusozi Lebanooni, okuva ku lusozi Baalukerumoni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi.

Read full chapter