2 Abakkolinso 5:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Kubanga tumanyi ng’ennyumba yaffe ey’ensiisira ey’oku nsi bw’erisaanyizibwawo, tulina ennyumba okuva eri Katonda, ennyumba etaakolebwa na mikono, ey’olubeerera ey’omu ggulu.
Read full chapter
2 Abakkolinso 5:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa, nga tetwagala kusangibwa nga tetwambadde, wabula nga twambadde, omubiri ogufa gumiribwe obulamu.
Read full chapter
2 Peetero 1:13-14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Era ndowooza nti kiŋŋwanira nga nkyali mu mubiri guno, okubakubirizanga nga nneeyongera okubibajjukiza. 14 (B)Kubanga mmanyi nga nnaatera okuva mu mubiri guno, nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza.
Read full chapter
Yobu 4:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Omuguwa gwa weema yaabwe gusimbulwa munda,
ne bafa ng’abasirusiru.’ ”
Abaebbulaniya 1:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Era olibizingako ng’ekooti bwe zingibwako,
era birikyusibwa ng’ekyambalo bwe kikyusibwa.
Naye ggwe oba bumu,
so n’emyaka gyo tegirikoma.”
Yobu 7:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)“Ennaku zange zidduka okusinga ekyuma ky’omulusi w’engoye bw’atambuza ky’alusisa engoye ze;
era zikoma awatali ssuubi.
Zabbuli 73:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 Naye mbonaabona obudde okuziba,
era buli nkya mbonerezebwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.