Add parallel Print Page Options

(A)Ffe ng’abakolera awamu ne Katonda, tubeegayirira, ekisa kya Katonda kye mufunye, kireme kufa bwereere.

Read full chapter

    (A)Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga,
okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu,
    n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku.
Ekyambalo ky’okutendereza
    mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa
balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama,
    balyoke baweebwe ekitiibwa.

Read full chapter

20 (A)Mwazimbibwa ku musingi ogw’abatume ne bannabbi, nga Kristo Yesu ly’ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. 21 (B)Mu oyo ffenna tuzimbibwa wamu ne tugattibwa wamu ne tubeera essinzizo ettukuvu mu Mukama waffe. 22 Era nammwe mwazimbibwa wamu mu kizimbe ekyo Kristo ky’azimbye okubeeranga ekifo Omwoyo wa Katonda mwabeera.

Read full chapter

(A)Mujje gy’ali nga muli ng’amayinja amalamu, muzimbibwemu ennyumba ey’omwoyo. Mulyoke mube bakabona be abaweereza ssaddaaka ey’omwoyo, esiimibwa Katonda mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Read full chapter