Add parallel Print Page Options

17 (A)Noolwekyo “muve wakati mu bo,
    mubeeyawuleko,
    bw’ayogera Mukama.
Temukwata ku bitali birongoofu,
    nange nnaabaaniriza.”

Read full chapter

12 (A)Mu biro ebyo Mukama alikusengejja okuva mu mazzi agakulukuta ag’Omugga Fulaati okutuuka ku mugga gw’e Misiri we guyiwa, era mmwe abaana ba Isirayiri mulikuŋŋaanyizibwa kinnoomu. 13 (B)Era mu biro ebyo ekkondeere eddene lirivuga, n’abo abaali boolekedde okuzikiririra mu nsi y’e Bwasuli, n’abo abaali baawaŋŋangusizibbwa mu Misiri balikomawo ne basinza Mukama ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi.

Read full chapter

Noolwekyo, obusungu bwange obungi ennyo kyebwava bubabuubuukira; ne buzinda ebibuga bya Yuda n’enguudo za Yerusaalemi era ne bifuuka amatongo, ne leero.

Read full chapter

(A)Anaanudde omutego gwe okufaanana nga ogw’omulabe,
    era omukono gwe ogwa ddyo mweteefuteefu.
Azikirizza ebyo byonna ebisanyusa amaaso
    mu weema ey’omuwala wa Sayuuni,
okufaanana ng’omulabe bwe yandikoze;
    obusungu bwe bubuubuuka ng’omuliro.

Read full chapter