Add parallel Print Page Options

(A)Abaagalwa, nga bwe tulina ebisuubizo ng’ebyo, twetukuze mu buli kintu ekyonoona omubiri n’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.

Read full chapter

24 (A)era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okw’amazima.

Read full chapter

18 (A)Boogera ebigambo eby’okwekuluntaza era ebitaliimu nsa. Mu kwegomba kw’omubiri ne mu bukaba bwabwe basendasenda abo abali okumpi n’okubadduka abakyatambulira mu kibi. 19 (B)Babasuubiza eddembe, so nga bo bennyini baddu ba bikolwa ebibi eby’okuzikirira. Kubanga omuntu afuuka muddu w’ekyo ekimufuga. 20 (C)Era abantu bwe bategeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo, ne badduka okuva mu bintu ebyo eby’ensi ebyonoona era ebitwala abantu mu kuzikirira, ate ne bava awo ne babiddamu, bibasibira ddala era obulamu bwabwe bufuuka bubi nnyo okusinga bwe bwali okusooka.

Read full chapter