Add parallel Print Page Options

17 (A)Mu biro ebyo Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’alumba ekibuga ky’e Gaasi, n’akiwamba, n’oluvannyuma n’atandika okulumba n’e Yerusaalemi. 18 (B)Naye Yekoyaasi kabaka wa Yuda n’addira ebintu byonna ebyatukuzibwa Yekosafaati, ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda, n’ebirabo bye yali awonze, ne zaabu yonna eyali mu mawanika, n’abiggya mu yeekaalu ya Mukama n’abiweereza Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Oluvannyuma Kazayeeri n’alekayo okulumba Yerusaalemi.

Read full chapter