Add parallel Print Page Options

20 (A)Abaami be ne beekobaana, ne bamuttira mu nnyumba ey’e Miiro, ku kkubo eriserengeta e Siiro.

Read full chapter

(A)Bw’atyo Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi n’atumira bakabaka bano: Kokamu ow’e Kebbulooni, ne Piramu ow’e Yalamusi, ne Yafiya ow’e Lakisi ne Debiri ow’e Eguloni n’abagamba nti,

Read full chapter

14 (A)Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda n’aweereza obubaka eri kabaka w’e Bwasuli e Lakisi ng’agamba nti, “Nnyonoonye mu maaso go; ddayo ondeke. Nnaakusasula byonna by’ononsalira.” Kabaka w’e Bwasuli n’awooza ku Keezeekiya kabaka wa Yuda ttani kkumi eza ffeeza ne ttani emu eya zaabu.

Read full chapter

Sennakeribu Atiisatiisa Yerusaalemi

17 (A)Kabaka w’e Bwasuli n’atuma Talutani, omuduumizi we ow’oku ntikko, Labusalisi, omukulu wa bakungu, ne Labusake omuduumizi we alwanira ku ttale n’eggye eddene, okuva e Lakisi okugenda ewa kabaka Keezeekiya e Yerusaalemi. Ne batuuka e Yerusaalemi, ne bakoma awali olusalosalo olw’ekidiba eky’engulu[a] ekiri ku kkubo ery’Ennimiro ey’Omwozi w’Engoye.

Read full chapter

Footnotes

  1. 18:17 Ekidiba eky’engulu kye kidiba ekyasimibwa Keezeekiya okuggyanga amazzi okuva oluzzi Gikoni we lutandikira.