Add parallel Print Page Options

(A)Wabula teyatta batabani baabwe kubanga mu byawandiikibwa mu Kitabo eky’Amateeka ga Musa, Mukama yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga ku lw’abaana, so n’abaana tebattibwenga ku lw’abazadde baabwe; buli muntu anaafanga olw’ebibi bye ye.”

Read full chapter

(A)Naye n’atatta baana baabwe, wabula n’akola ng’etteeka mu kitabo kya Musa, Mukama we yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga olw’ekibi ky’abaana baabwe, so n’abaana tebattibwenga olw’ekibi ky’abazadde baabwe, naye buli muntu anaafanga olw’ekibi kye ye.”

Read full chapter

29 (A)“Mu nnaku ezo abantu banaaba tebakyagamba nti,

“ ‘Bakitaabwe balidde emizabbibu egikaawa[a],
    n’amannyo g’abaana ne ganyenyeera.’ ”

30 (B)Wabula buli muntu alifa olw’obutali butuukirivu bwe ye, buli muntu alya ezabbibu erinyenyeeza amannyo, amannyo ge galinyenyeera.

Read full chapter

Footnotes

  1. 31:29 emizabbibu gitera okuba nga giwoomerera noolwekyo tukisome nti giwoomerera

20 (A)Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olw’ebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olw’ebibi eby’omwana we. Obutuukirivu bw’omuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, n’obutali butuukirivu bw’oyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.

Read full chapter