Add parallel Print Page Options

29 (A)Mu biro bya Peka kabaka wa Isirayiri, Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga: by’e Iyoni, n’e Aberubesumaaka, n’e Yanoa, n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Gireyaadi n’e Ggaliraaya, n’ensi yonna eya Nafutaali, abantu baayo n’abatwala nga basibe e Bwasuli.

Read full chapter

(A)Wayabulira abantu bo
    ab’ennyumba ya Yakobo,
kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba,
    n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti,
    era basizza kimu ne bannamawanga.

Read full chapter

18 (A)Kaakano olowooza onooganyulwamu ki
    okugenda okukolagana ne Misiri?
Olowooza kiki ky’onoganyulwa
    bw’onogenda okukolagana ne Bwasuli?

Read full chapter

28 (A)Weetaba mu bikolwa eby’obwenzi n’Abasuuli, kubanga tewamalibwa, ate n’oluvannyuma lw’ekyo n’otamatira.

Read full chapter

(A)Erisutulibwa n’etwalibwa e Bwasuli
    n’eweebwa kabaka omukulu ng’ekirabo.
Efulayimu aliswazibwa
    ne Isirayiri alikwatibwa ensonyi olw’ekiteeso kye.

Read full chapter