Add parallel Print Page Options

18 Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isirayiri, n’abagoba mu maaso ge, n’alekawo ekika kya Yuda kyokka.[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 17:18 Obwakabaka obw’omu Bukiikaddyo baali bazzukulu ba Simyoni ne Benyamini, wabula Yuda ky’ekika kyokka ekyekuuma okutambuliranga mu mateeka ga Mukama (laba 1Bk 11:31-32).

11 (A)Tongoba w’oli,
    era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.

Read full chapter

(A)Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?
    Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
(B)Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;
    bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.
Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala
    ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10 (C)era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
    omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11 Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,
    n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12 (D)Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,
    ekiro kyakaayakana ng’emisana;
    kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.

Read full chapter

15 (A)Ndibagoba ne mu maaso gange, nga bwe nagoba baganda bammwe bonna, ezzadde lya Efulayimu lyonna.

Read full chapter

(A)Abalabe ba Yerusaalemi ne Yuda ne babalumba kubanga Mukama yali abanyiigidde. Ku nkomerero n’abagobamu mu nsi. Ebyo byonna ne bituuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, Mukama n’okubagoba n’abagoba mu maaso ge, ne Zeddekiya n’ajeemera kabaka w’e Babulooni.

Read full chapter

(A)“Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu,
    n’ogugwe gunaayiibwanga,
kubanga mu kifaananyi kya Katonda,
    Katonda mwe yakolera omuntu.

Read full chapter

19 (A)Omuwoolezi w’eggwanga yennyini y’anattanga omutemu; bw’anaamusisinkananga anaamuttanga.

Read full chapter

21 oba olw’obulabe bw’amulinako n’amukuba ekikonde, munne n’afa, omuntu oyo amukubye ekikonde anaafanga; kubanga mutemu. Omuwoolezi w’eggwanga y’anattanga omutemu oyo ng’amusisinkanye.

Read full chapter

27 omuwoolezi w’eggwanga n’amala amusanga ebweru w’ekibuga ekyo, n’amutta, omuwoolezi w’eggwanga taabengako musango gwa butemu.

Read full chapter

33 (A)“ ‘Temwonoonanga nsi gye mubeeramu. Okuyiwa omusaayi kyonoona ensi; okutangiririra ensi omuyiise omusaayi si kyangu, okuggyako ng’etangiririrwa n’omusaayi gw’oyo eyayiwa omusaayi mu nsi omwo.

Read full chapter