Add parallel Print Page Options

13 (A)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga byonna ebyaliko bbugwe ebya Yuda, n’abiwamba. 14 (B)Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda n’aweereza obubaka eri kabaka w’e Bwasuli e Lakisi ng’agamba nti, “Nnyonoonye mu maaso go; ddayo ondeke. Nnaakusasula byonna by’ononsalira.” Kabaka w’e Bwasuli n’awooza ku Keezeekiya kabaka wa Yuda ttani kkumi eza ffeeza ne ttani emu eya zaabu. 15 (C)Keezeekiya n’amuwa ffeeza yonna eyali mu yeekaalu ya Mukama n’eyo eyali mu mawanika ag’omu lubiri.

16 Mu kiseera ekyo Keezeekiya kabaka wa Yuda n’aggyako zaabu gwe yali atadde ku nzigi ne ku minyolo egya yeekaalu ya Mukama, n’amuwa kabaka w’e Bwasuli.

Sennakeribu Atiisatiisa Yerusaalemi

17 (D)Kabaka w’e Bwasuli n’atuma Talutani, omuduumizi we ow’oku ntikko, Labusalisi, omukulu wa bakungu, ne Labusake omuduumizi we alwanira ku ttale n’eggye eddene, okuva e Lakisi okugenda ewa kabaka Keezeekiya e Yerusaalemi. Ne batuuka e Yerusaalemi, ne bakoma awali olusalosalo olw’ekidiba eky’engulu[a] ekiri ku kkubo ery’Ennimiro ey’Omwozi w’Engoye. 18 (E)Awo ne bayita kabaka, naye Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali ssabakaaki, Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bagenda gye bali.

19 Awo Labusake n’abagamba nti, “Mutegeeze Keezeekiya nti,

“ ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli nti, Kiki kye weesiga?

Read full chapter

Footnotes

  1. 18:17 Ekidiba eky’engulu kye kidiba ekyasimibwa Keezeekiya okuggyanga amazzi okuva oluzzi Gikoni we lutandikira.

Sennakeribu Atiisatiisa Yerusaalemi

36 (A)Awo olwatuuka, mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe n’abiwamba.

Read full chapter

(A)Ate era kabaka Sennakeribu n’afuna obubaka nti Tiraaka kabaka w’e Kuusi azze okumulwanyisa. Bwe yakiwulira n’asindika ababaka eri Keezeekiya n’obubaka buno nti,

Read full chapter

17 (A)Otege okutu kwo Ayi Mukama owulire, ozibule amaaso go, Ayi Mukama, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu by’aweerezza okuvuma Katonda omulamu.

Read full chapter

37 (A)Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’avaayo n’addayo n’abeera e Nineeve.

Read full chapter