Add parallel Print Page Options

Sennakeribu Atiisatiisa Yerusaalemi

17 (A)Kabaka w’e Bwasuli n’atuma Talutani, omuduumizi we ow’oku ntikko, Labusalisi, omukulu wa bakungu, ne Labusake omuduumizi we alwanira ku ttale n’eggye eddene, okuva e Lakisi okugenda ewa kabaka Keezeekiya e Yerusaalemi. Ne batuuka e Yerusaalemi, ne bakoma awali olusalosalo olw’ekidiba eky’engulu[a] ekiri ku kkubo ery’Ennimiro ey’Omwozi w’Engoye.

Read full chapter

Footnotes

  1. 18:17 Ekidiba eky’engulu kye kidiba ekyasimibwa Keezeekiya okuggyanga amazzi okuva oluzzi Gikoni we lutandikira.

20 (A)Ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya n’ebyobuzira bye byonna, ne bwe yakola ekidiba n’omudumu omunene ebyaleetanga amazzi mu kibuga, tebyawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo eky’ebyomumirembe bya bassekabaka ba Yuda?

Read full chapter

(A)Walaba amabanga agaali mu kwerinda
    kw’Ekibuga kya Dawudi,
wakuŋŋaanya amazzi
    mu Kidiba eky’Emmanga.

Read full chapter

11 (A)Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri,
    n’okuŋŋaanya ag’ekidiba ekikadde,
naye tewatunuulira Oyo eyakisima,
    wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro eby’edda.

Read full chapter

14 (A)Weenyweze bajja kukulumba!
    Weeterekere ku mazzi g’onoonywako.
Nyweza ebisenge byo.
    Noonya ettaka olisambe
    oddaabirize ekisenge eky’amatoffaali.

Read full chapter