2 Bassekabaka 18:9-12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ate nga gwe mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Koseya mutabani wa Era, kabaka wa Isirayiri, Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba Samaliya n’akizingiza. 10 Bwe wayitawo emyaka esatu, mu mwaka ogw’omukaga ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ate nga gwe mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya kabaka wa Isirayiri, Samaliya ne kiwambibwa. 11 (B)Kabaka w’e Bwasuli n’atwala Abayisirayiri e Bwasuli mu buwaŋŋanguse, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga gw’e Gozani ne mu bibuga by’Abameedi, 12 (C)kubanga tebagondera ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, naye baasobya endagaano ye, n’ebyo byonna Musa omuddu wa Katonda bye yalagira. Naye ne batabiwulirizza wadde okubigondera.
Read full chapter
Koseya 10:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu,
n’ebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa,
nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw’olutalo,
abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka n’abaana baabwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.