Add parallel Print Page Options

Manase Kabaka wa Yuda

21 (A)Manase yatandika okufuga ng’alina emyaka kkumi n’ebiri, era n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Kefuziba. (B)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu makubo amabi ag’amawanga Mukama ge yali agobye mu maaso g’Abayisirayiri. (C)Yaddamu n’azimba ebifo ebigulumivu eby’okusamira, Keezeekiya kitaawe bye yali amenye: era yazimba n’ebyoto ebya Baali, n’asimba n’empagi kya Asera, nga Akabu kabaka wa Isirayiri bwe yakola, n’okusinza n’asinza eggye ery’omu ggulu. (D)Yazimba n’ebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yali ayogeddeko nti, “Mu Yerusaalemi mwe mulibeera Erinnya lyange.” (E)Era yazimbira eggye lyonna ery’omu ggulu ebyoto mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. (F)N’awaayo mutabani we okuba ekyokebwa, ng’akola eby’obufumu n’eby’obulogo, ate ng’alagulwa n’abaliko emizimu, n’abalogo. N’akola ebibi bingi mu maaso ga Mukama, era n’amusunguwaza.

(G)Yaddira ekifaananyi ekyole ekya Asera n’akiteeka mu yeekaalu, Mukama gye yali ayogeddeko ng’agamba Dawudi ne mutabani we Sulemaani nti, “Mu Yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi, bye nneeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga erinnya lyange emirembe gyonna. (H)Siriddayo nate kujja bigere eby’Abayisirayiri mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, bwe baneekuumanga okukola bye nabalagira byonna wamu n’amateeka omuddu wange Musa ge yabawa.” (I)Naye abantu tebaawuliriza, era Manase n’abasendasenda okukola ebibi okusinga n’ebyo amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso g’Abayisirayiri bye gaakola.

10 Awo Mukama n’ayogerera mu baddu be bannabbi 11 (J)nti, “Olw’emizizo gino Manase kabaka wa Yuda gy’akoze, ng’ayonoona okusinga Abamoli abaamusooka bye baakola, n’ayonoonyesa Yuda n’ebifaananyi bye, 12 (K)bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ndireeta ku Yerusaalemi ne ku Yuda obubi obusingirayo ddala, era na buli muntu alikiwulira, alisasamala. 13 (L)Ndigolola omuguwa ogwakozesebwa ku Samaliya n’ejjinja erigera eryakozesebwa ku nnyumba ya Akabu eri Yerusaalemi, era ne mmalirawo ddala Yerusaalemi ng’omuntu bw’akomba esowaani okumalirako ddala emmere, n’okugifuula n’agifuula. 14 (M)Era ndyabulira ekitundu ekyafikkawo eky’obusika bwange, ne nkigabula mu mukono gw’abalabe baabwe, ne bababbako buli kantu, 15 (N)kubanga baakola ebibi mu maaso gange, ne bansunguwaza nnyo okuviira ddala ku lunaku bajjajjaabwe kwe baaviirako mu Misiri n’okutuusa ku lunaku lwa leero.’ ”

16 (O)Ate, era Manase yayiwa omusaayi mungi gw’abo abataaliko musango, n’agujjuza Yerusaalemi, obutasaako ebibi ebirala bye yayonoonyesa Yuda, ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama. 17 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Manase, ne byonna bye yakola, okwo nga kwe kuli n’ebibi bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 18 (P)Awo Manase n’afa, n’aziikibwa mu nnimiro ey’olubiri lwe, ye nnimiro ya Uzza, ne mutabani we Amoni n’amusikira okuba kabaka.

Amoni Kabaka wa Yuda

19 Amoni lwe yatandika okufuga, yali awezezza emyaka amakumi abiri mu ebiri, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri. Nnyina ye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow’e Yotuba. 20 (Q)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola. 21 N’atambulira mu ngeri za kitaawe, n’asinzanga ebifaananyi kitaawe bye yasinzanga. 22 (R)Yava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, n’atatambulira mu kkubo lya Mukama.

23 (S)Awo abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe, ne bamuttira mu lubiri lwe. 24 (T)Awo olwatuuka, abantu mu nsi ne beekobaana, ne batta abo bonna abaali mu lukwe olw’okumutta, era ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka.

25 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amoni, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 26 (U)Kabaka n’aziikibwa mu ntaana ye mu nnimiro ya Uzza, mutabani we Yosiya n’amusikira okuba kabaka.

Manasseh King of Judah(A)(B)

21 Manasseh was twelve years old when he became king, and he reigned in Jerusalem fifty-five years. His mother’s name was Hephzibah.(C) He did evil(D) in the eyes of the Lord, following the detestable practices(E) of the nations the Lord had driven out before the Israelites. He rebuilt the high places(F) his father Hezekiah had destroyed; he also erected altars to Baal(G) and made an Asherah pole,(H) as Ahab king of Israel had done. He bowed down to all the starry hosts(I) and worshiped them. He built altars(J) in the temple of the Lord, of which the Lord had said, “In Jerusalem I will put my Name.”(K) In the two courts(L) of the temple of the Lord, he built altars to all the starry hosts. He sacrificed his own son(M) in the fire, practiced divination,(N) sought omens, and consulted mediums and spiritists.(O) He did much evil in the eyes of the Lord, arousing(P) his anger.

He took the carved Asherah pole(Q) he had made and put it in the temple,(R) of which the Lord had said to David and to his son Solomon, “In this temple and in Jerusalem, which I have chosen out of all the tribes of Israel, I will put my Name(S) forever. I will not again(T) make the feet of the Israelites wander from the land I gave their ancestors, if only they will be careful to do everything I commanded them and will keep the whole Law that my servant Moses(U) gave them.” But the people did not listen. Manasseh led them astray, so that they did more evil(V) than the nations(W) the Lord had destroyed before the Israelites.

10 The Lord said through his servants the prophets: 11 “Manasseh king of Judah has committed these detestable sins. He has done more evil(X) than the Amorites(Y) who preceded him and has led Judah into sin with his idols.(Z) 12 Therefore this is what the Lord, the God of Israel, says: I am going to bring such disaster(AA) on Jerusalem and Judah that the ears of everyone who hears of it will tingle.(AB) 13 I will stretch out over Jerusalem the measuring line used against Samaria and the plumb line(AC) used against the house of Ahab. I will wipe(AD) out Jerusalem as one wipes a dish, wiping it and turning it upside down. 14 I will forsake(AE) the remnant(AF) of my inheritance and give them into the hands of enemies. They will be looted and plundered by all their enemies; 15 they have done evil(AG) in my eyes and have aroused(AH) my anger from the day their ancestors came out of Egypt until this day.”

16 Moreover, Manasseh also shed so much innocent blood(AI) that he filled Jerusalem from end to end—besides the sin that he had caused Judah(AJ) to commit, so that they did evil in the eyes of the Lord.

17 As for the other events of Manasseh’s reign, and all he did, including the sin he committed, are they not written in the book of the annals of the kings of Judah? 18 Manasseh rested with his ancestors and was buried in his palace garden,(AK) the garden of Uzza. And Amon his son succeeded him as king.

Amon King of Judah(AL)

19 Amon was twenty-two years old when he became king, and he reigned in Jerusalem two years. His mother’s name was Meshullemeth daughter of Haruz; she was from Jotbah. 20 He did evil(AM) in the eyes of the Lord, as his father Manasseh had done. 21 He followed completely the ways of his father, worshiping the idols his father had worshiped, and bowing down to them. 22 He forsook(AN) the Lord, the God of his ancestors, and did not walk(AO) in obedience to him.

23 Amon’s officials conspired against him and assassinated(AP) the king in his palace. 24 Then the people of the land killed(AQ) all who had plotted against King Amon, and they made Josiah(AR) his son king in his place.

25 As for the other events of Amon’s reign, and what he did, are they not written in the book of the annals of the kings of Judah? 26 He was buried in his tomb in the garden(AS) of Uzza. And Josiah his son succeeded him as king.