Add parallel Print Page Options

12 (A)Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda, ne nnyina, n’abaddu ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami be bonna ne beewaayo eri kabaka w’e Babulooni mu mwaka gwe ogw’omunaana bukya alya bwakabaka, era Yekoyakini n’atwalibwa nga musibe.

Read full chapter

Yekoyakini Asumululwa

31 Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu ogw’okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, mu mwaka Evirumerodaki lwe yafuuka kabaka w’e Babulooni, n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda, n’amuggya mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu etaano olw’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri. 32 N’ayogera naye n’ekisa n’amuwa entebe ey’ekitiibwa eya waggulu okusinga eza bakabaka abalala abaali naye e Babulooni. 33 (A)Yekoyakini n’akyusa okuva mu ngoye ez’ekkomera era obulamu bwe obusembayo n’aliranga ku mmeeza ya kabaka. 34 (B)Era kabaka w’e Babulooni yawanga Yekoyakini ensako eya buli lunaku, obulamu bwe bwonna okutuusa lwe yafa.

Read full chapter