Add parallel Print Page Options

13 (A)Era mu kiseera kye kimu, Nebukadduneeza n’atwala eby’obugagga byonna okuva mu yeekaalu ya Mukama, n’okuva mu lubiri lwa kabaka, era n’atemaatema ebibya byonna ebya zaabu, Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yali akoze ng’abitadde mu yeekaalu ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira.

Read full chapter

(A)Nebukadduneeza n’atwala n’ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama e Babulooni, n’abiteeka mu ssabo lye.

Read full chapter

10 (A)Awo omwaka bwe gwali nga gunaatera okuggwaako, kabaka Nebukadduneeza n’amutumya, n’aleetebwa e Babulooni n’ebintu byonna eby’omuwendo okuva mu yeekaalu ya Mukama. Nebukadduneeza n’afuula Zeddekiya kitaawe omuto okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.

Read full chapter

14 (A)Ebintu ebya zaabu n’ebya ffeeza eby’omu nnyumba ya Katonda, Nebukadduneeza bye yanyaga mu yeekaalu eyali mu Yerusaalemi n’abitwala mu ssabo ly’e Babulooni, Kabaka Kuulo n’abiggyayo. Kabaka Kuulo n’abikwasa omusajja erinnya lye Sesubazaali, gwe yalonda okuba owessaza,

Read full chapter

(A)Ate era n’ebintu ebya zaabu n’ebya ffeeza eby’omu nnyumba ya Katonda, Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu e Yerusaalemi n’abireeta e Babulooni, bizibweyo mu bifo byabyo mu yeekaalu e Yerusaalemi; mulibiteeka mu nnyumba ya Katonda.

Read full chapter