Add parallel Print Page Options

(A)N’ayokya yeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna na buli kizimbe ekikulu era nga kya muwendo mu Yerusaalemi.

Read full chapter

13 (A)Mukama agamba nti,

“Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe,
    ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe,
    naye ng’emitima gyabwe gindi wala.
Okunsinza kwe bansinza,
    biragiro abantu bye baayigiriza.

Read full chapter

(A)Wayogera nti,
    ‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’
naye n’otolowooza ku bintu bino
    wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.

Read full chapter

57 (A)Abantu abatuukirivu bazikirira,
    naye tewali akirowoozako n’akatono.
Abantu abeewaddeyo eri Katonda
    batwalibwa nga tewali n’afuddeyo kukirowoozaako.
Kubanga omutuukirivu aggyibwawo
    olw’akabi akagenda okujja.

Read full chapter

11 (A)“B’ani abo be watya n’otekemuka n’obawuliriza,
    n’olyoka olimba,
nze n’otonzijukira n’akatono
    wadde okundowoozaako?
Olw’okubanga nsirise n’esikunyega
    ky’ekikuyinudde n’onneerabira n’ompisaamu amaaso.

Read full chapter

(A)Bannaggwanga banyuunyunta amaanyi ge
    naye takimanyi.
Mu nviiri ze mulimu envi,
    naye takiraba.

Read full chapter