Add parallel Print Page Options

(A)Mesa Kabaka wa Mowaabu yalundanga endiga, era yalina omutemwa ogw’okuwangayo abaana b’endiga emitwalo kkumi, n’ebyoya by’endiga ennume emitwalo kkumi eri Akabu.

Read full chapter

(A)Ku buli mwana gwa ndiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa oba ogwa ssaddaaka, munaateekerateekerangako obutundu mwenda obwa Ini ey’envinnyo nga kye kiweebwayo ekyokunywa.

(B)“Bwe munaabanga muwaayo endiga ennume munaateekateekanga ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eweza nga kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu obwa Ini ez’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’obutundu mwenda n’obutundu bubiri obwa Ini, era n’obutundu mwenda n’obutundu bubiri obwa Ini obw’envinnyo nga kye kiweebwayo ekyokunywa, eky’akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.

(C)“Bwe munaabanga muteekateeka ente ennume ento ey’ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka, okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama Katonda, (D)ku nte eyo ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eweza gulaamu mukaaga n’ekitundu ez’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni agaweza kilo emu n’ekitundu. 10 Era munaaleetanga envinnyo eweza lita bbiri nga kye kiweebwayo ekyokunywa. Kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa mu muliro ne kivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. 11 Buli nte ennume oba endiga ennume, na buli mwana gwa ndiga oba embuzi ento, zonna zinaateekebwateekebwanga mu ngeri eyo. 12 Munaakolanga bwe mutyo ku buli gye munaateekateekanga nga bwe zinenkananga obungi.

Read full chapter

(A)Mmwe munoonyanga mu bika byammwe byonna, ekifo Mukama Katonda wammwe ky’alibalondera we munaateekanga Erinnya lye ne mumuzimbira awo ennyumba ye ey’okubeerangamu. Mu kifo ekyo gye munaagendanga okumusinza; (B)awo we munaaleetanga ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ne biweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’obweyamo bwammwe, n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire, n’ebibereberye eby’omu bisibo byammwe n’eby’omu biraalo byammwe. (C)Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze n’emikono gyammwe, kubanga Mukama Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa.

Temukolanga nga bwe tukola wano leero, nga buli omu akola nga bw’alaba ekisaanidde, kubanga temunnatuuka mu kiwummulo ne mu busika Mukama Katonda wammwe bw’abawa. 10 (D)Naye bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ne mubeera mu nsi Mukama Katonda wammwe gy’abawa nga bwe busika bwammwe, ng’abawadde n’okuwummula, nga temukyataataaganyizibwa balabe bammwe abanaabanga babeetoolodde n’okutuula ne mutuulanga mu mirembe; 11 (E)kale nno, mu kifo ekyo Mukama Katonda wammwe kyanaabanga yeerondedde okutuuzanga omwo Erinnya lye, omwo mwe munaaleetanga buli kintu kyonna kye mbalagira: ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’ebirabo ebisinga obulungi mu bintu byammwe bye munaabanga mweyamye okuwaayo eri Mukama.

Read full chapter