Add parallel Print Page Options

12 (A)Kazayeeri n’abuuza nti, “Kiki ekikaabya mukama wange?” Erisa n’amuddamu nti, “Kubanga mmanyi obubi bw’olikola Abayisirayiri; olikuma omuliro ku bigo byabwe, n’otta abavubuka baabwe n’ekitala, n’osesebbulira abaana abato ku ttaka, era n’obaaga n’abakyala abali embuto.”

Read full chapter

29 (A)Awo kabaka Yolaamu n’addayo e Yezuleeri okumujjanjaba ebiwundu Abasuuli bye baamuleetako ng’ali e Lama, bwe yali ng’alwanagana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n’aserengeta e Yezuleeri okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu, kubanga yali afumitiddwa ebiwundu.

Read full chapter

Yeeku atta Yolaamu ne Akaziya

14 (A)Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati, muzzukulu wa Nimusi n’asalira Yolaamu olukwe. Yolaamu wamu ne Isirayiri yenna baali bakuuma e Lamosugireyaadi, Kazayeeri kabaka w’e Busuuli aleme okubalumba.

Read full chapter

(A)Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri, n’abawaayo okubeera wansi ow’omukono gwa Kazayeeri kabaka w’e Busuuli ne Benikadadi mutabani we.

Read full chapter

(A)Mukama teyalekerawo ggye lya Yekoyakaazi kintu okuggyako abasajja abeebagala embalaasi amakumi ataano, n’amagaali kkumi, n’abaserikale ab’ebigere omutwalo gumu, kubanga kabaka w’e Busuuli yabizikiriza, n’abifuula ng’enfuufu ey’omu gguuliro.

Read full chapter

22 (A)Mu kiseera kye kimu Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’ajooga Isirayiri ebbanga lyonna Yekoyakaazi we yabeerera kabaka.

Read full chapter