Add parallel Print Page Options

Kazayeeri Atta Benikadadi

(A)Erisa n’agenda e Ddamasiko n’asanga Benikadadi kabaka w’e Busuuli ng’alwadde. Kabaka bwe yategeezebwa nti, “Omusajja wa Katonda atuuse mu kitundu,” (B)n’agamba Kazayeeri nti, “Ffuna ekirabo, ogende osisinkane omusajja wa Katonda, weebuuze ku Mukama ng’oyita mu ye oba, ndiwona endwadde eno.”

Kazayeeri n’agenda okusisinkana Erisa, n’amutwalira n’ebirabo eby’engeri zonna okuva e Ddamasiko[a], ku ŋŋamira amakumi ana. N’agenda n’ayimirira mu maaso ge, n’amugamba nti, “Mutabani wo Benikadadi kabaka w’e Busuuli antumye okukubuuza nti, ‘Ndiwona endwadde eno?’ ” 10 (C)Erisa n’amuddamu nti, “Genda omutegeeze nti, ‘Ojja kuwona;’ naye Mukama akimbikulidde nti talirema kufa.” 11 (D)N’amutunuulira n’amaaso ag’enkaliriza, okutuusa Kazayeeri bwe yakwatibwa ensonyi, omusajja wa Katonda n’atandika okukaaba.

12 (E)Kazayeeri n’abuuza nti, “Kiki ekikaabya mukama wange?” Erisa n’amuddamu nti, “Kubanga mmanyi obubi bw’olikola Abayisirayiri; olikuma omuliro ku bigo byabwe, n’otta abavubuka baabwe n’ekitala, n’osesebbulira abaana abato ku ttaka, era n’obaaga n’abakyala abali embuto.” 13 (F)Awo Kazayeeri n’addamu nti, “Nze ani omuddu wo, embwa obubwa, ayinza okukola ekintu ng’ekyo?” Erisa n’amuddamu nti, “Mukama akimbikulidde nti ggwe ogenda okubeera kabaka w’e Busuuli.” 14 Awo n’ava mu maaso ga Erisa, n’addayo eri mukama we. Benikadadi n’amubuuza nti, “Erisa yakugambye ki?” Kazayeeri n’amuddamu nti, “Yaŋŋambye nti eky’amazima ojja kuwona.” 15 (G)Naye olunaku olwaddirira, enkeera, n’addira ekiwero ekinene, n’akinnyika mu mazzi, n’akibikka ku maaso ga kabaka, okutuusa bwe yafa. N’oluvannyuma Kazayeeri n’alya obwakabaka mu kifo kye.

Read full chapter

Footnotes

  1. 8:9 Ddamasiko kyali kibuga kikulu nga kya byamaguzi nga kisangibwa wakati wa Misiri, Asiya ne Mesopotamiya.