Add parallel Print Page Options

26 (A)‘Mazima ddala, nga jjo bwe nnalabye omusaayi gwa Nabosi n’omusaayi gw’abaana be, siireme kukusasulira mu kibanja kino kyennyini,’ bw’ayogera Mukama. Kaakano mumusitule mumusuule mu kibanja ekyo ng’ekigambo kya Mukama bwe kiri.”

Read full chapter

Akabu Yeegomba Ennimiro ya Nabosi

21 (A)Awo ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo ensonga ekwata ku nnimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu, eyali eriraanye olubiri lwa Akabu kabaka wa Samaliya.[a] Awo Akabu n’agamba Nabosi nti, “Mpa ennimiro yo ey’emizabbibu nnimiremu enva, nga bw’eriraanye olubiri lwange. Mu kifo kyayo nzija kukuwaamu ennimiro ey’emizabbibu endala, oba bw’onoosiima, nnaakusasulamu omuwendo ogugigyamu.”

(B)Nabosi n’amuddamu nti, “Kikafuuwe, nze okukuwa obusika bwa bajjajjange.”

(C)Awo Akabu n’addayo eka ng’annyogoze nnyo era nga munyiivu kubanga Nabosi Omuyezuleeri yamugamba nti, “Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange.” N’agalamira ku kitanda kye nga yeesooza, n’agaana n’okulya.

Naye Yezeberi mukazi we n’ayingira, n’amubuuza nti, “Lwaki onnyogoze nnyo bw’otyo n’okulya n’otalya?”

N’amuddamu nti, “Kubanga ŋŋambye Nabosi Omuyezuleeri antunze ennimiro ye ey’emizabbibu, oba bw’anaasiima muwaanyiseemu ennimiro endala. Naye agambye nti, ‘Sijja kukuwa nnimiro yange ey’emizabbibu.’ ”

(D)Yezeberi mukazi we n’amugamba nti, “Bw’otyo bwe weeyisa nga kabaka wa Isirayiri? Golokoka olye! Ddamu amaanyi. Nzija kukufunira ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 21:1 Samaliya kye kyali ekibuga ekikulu eky’obwakabaka obw’omu Bukiikakkono, era kye kyogerebwako wano.

15 (A)Amangwago Yezeberi bwe yawulira nti Nabosi yakubibwa amayinja era n’afa, n’agamba Akabu nti, “Golokoka otwale ennimiro ey’emizabbibu eya Nabosi Omuyezuleeri gye yagaana okukuguza, kubanga takyali mulamu, mufu.” 16 Akabu bwe yawulira nti Nabosi afudde n’agolokoka n’aserengeta okutwala ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu. 17 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nti, 18 “Serengeta eri Akabu kabaka wa Isirayiri afugira mu Samaliya, kubanga laba ali mu nnimiro ey’emizabbibu eya Nabosi era agenze okugitwala. 19 (B)Mugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Tosse omusajja n’okutwala n’otwala obugagga bwe?’ Olyoke omugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Mu kifo embwa wezikombedde omusaayi gwa Nabosi, embwa mwezirikombera ogugwo.’ ”

Read full chapter