Add parallel Print Page Options

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama, ‘Temulumba baganda bammwe. Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe, kubanga kino kivudde gye ndi.’ ” Awo ne bagondera ekigambo kya Mukama, ne baddayo, ne batagenda kulumba Yerobowaamu.

Read full chapter

16 Naye bwe yali ng’akyayogera, kabaka n’amubuuza nti, “Twali tukulonze okuba omuwi wa magezi owa kabaka? Sirika! Lwaki onoonya okuttibwa?” Awo nnabbi nga tannasirika, n’ayogera kino nti, “Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza, kubanga tossizaayo mwoyo ku kubuulirira kwange.”

17 Awo Amaziya kabaka wa Yuda ne yeebuuza ku bawi b’amagezi be, n’aweereza obubaka eri Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Jjangu tusisinkane amaaso n’amaaso.”

18 (A)Naye Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’addamu Amaziya kabaka wa Yuda bw’ati nti, “Omwennyango ogwali mu Lebanooni gw’aweereza obubaka eri omuvule ogwali mu Lebanooni, nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo eri mutabani wange, amufumbirwe,’ naye ensolo ey’omu nsiko eyali mu Lebanooni, ng’eyitawo, n’erinnyirira omwennyango. 19 Weewaana nga bw’owangudde Edomu, era omutima gwo gujjudde okwegulumiza n’okwenyumiriza. Naye sigala ewuwo. Lwaki onoonya emitawaana, ne weeretera okugwa, ggwe ne Yuda?”

20 (B)Naye Amaziya n’atawuliriza, kubanga okuwangulwa abalabe baabwe kwava eri Katonda, kubanga bava ku Katonda waabwe ne banoonya bakatonda ba Edomu.

Read full chapter

29 (A)Awo mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yali ng’ava mu Yerusaalemi, n’asisinkana Akiya nnabbi w’e Siiro ng’ayambadde ekyambalo ekiggya, baali bokka ku ttale.

Read full chapter