Add parallel Print Page Options

(A)Awo Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi n’atwala obugagga obw’omu yeekaalu ya Mukama, n’obugagga obw’omu lubiri lwa kabaka, n’atwala buli kintu kyonna, era n’atwala n’engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze.

Read full chapter

(A)N’azimba olubiri nga luli ng’Ekibira kya Lebanooni[a], obuwanvu mita amakumi ana mu mukaaga, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’obugulumivu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, nga luwaniriddwa ku mpagi nnya ez’emivule.

Read full chapter

Footnotes

  1. 7:2 Olubiri lwa Sulemaani lwayitibwa Ekibira kya Lebanooni olw’empagi z’emivule ezaali zizimbiddwamu nga zitegekeddwa ng’emiti egisangibwa mu kibira. Emivule gyavanga Lebanooni