Add parallel Print Page Options

Emyaka gya Asa egyasembayo

16 (A)Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omukaaga ogw’obufuzi bwa Asa, Baasa kabaka wa Isirayiri n’alumba Yuda, n’azimba ebigo ku Laama okuziyiza omuntu yenna okuyingira wadde okufuluma mu nsalo ya Asa kabaka wa Yuda.

Awo Asa n’addira ffeeza ne zaabu ebyali mu mawanika ga yeekaalu ya Mukama, n’ebyali mu lubiri lwa kabaka, n’abiweereza Benikadadi kabaka w’e Busuuli, eyabeeranga e Ddamasiko, n’aweereza n’obubaka nti, (B)“Wabeerewo endagaano wakati wo nange, ng’eri eyaliwo wakati wa kitange ne kitaawo. Laba, nkuweerezza ffeeza ne zaabu omenyewo endagaano yo wakati wo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.”

Benikadadi n’akkiriziganya ne kabaka Asa, era n’aweereza abaduumizi b’eggye lye okulumba ebibuga bya Isirayiri; ne bawamba Yiyoni, ne Ddaani ne Aberumayimu, n’ebibuga byonna eby’amaterekero ebya Nafutaali. Awo Baasa bwe yawulira ekyo, n’alekeraawo okuzimba mu Laama, n’omulimu n’agukomya. Kabaka Asa n’aleeta Yuda yenna e Laama, ne baggyayo amayinja n’embaawo Baasa bye yali azimbisa, Asa n’abikozesa okuzimba Geba ne Mizupa.

(C)Mu biro ebyo Kanani omulabi n’ajja eri Asa kabaka wa Yuda, n’amugamba nti, “Olw’okwesiga kabaka w’e Busuuli mu kifo ky’okwesiga Mukama Katonda wo, eggye lya kabaka w’e Bwasuli kyelivudde likuddukako. (D)Abaesiyopiya n’Abalubimu tebaali ggye ddene nga balina amagaali mangi n’abeebagala embalaasi bangi? Naye, olwokubanga weesiga Mukama, kyeyava abagabula mu mukono gwo. (E)Kubanga amaaso ga Mukama galaba wonna mu nsi, nga ganyweza emitima gy’abo abamwesigira ddala. Ky’okoze kya busirusiru, era okuva ne leero ojja kubeeranga n’entalo.”

10 Awo Asa n’anyiigira nnyo omulabi, n’amuteeka ne mu kkomera. Mu kiseera kye kimu Asa n’ayisa bubi nnyo abantu abamu.

11 Ebyafaayo eby’obufuzi bwa Asa okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri. 12 (F)Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwe, Asa n’alwala ebigere. Newaakubadde ng’obulwadde bweyongera, teyanoonyanga buyambi okuva eri Mukama, yabunoonyanga mu basawo bokka. 13 Awo mu mwaka ogw’amakumi ana mu ogumu ogw’obufuzi bwe, Asa ne yeebakira awamu ne bajjajjaabe. 14 (G)N’aziikibwa mu ntaana gye yali yeezimbidde mu kibuga kya Dawudi. Ne bamuteeka ku kitanda ekyaliko obuloosa obwenjawulo n’obuwoowo obwa buli kika, ne bamukumira n’ekyoto ky’omuliro kinene nnyo okujjukira bye yakola.

Asa’s Last Years(A)(B)

16 In the thirty-sixth year of Asa’s reign Baasha(C) king of Israel went up against Judah and fortified Ramah to prevent anyone from leaving or entering the territory of Asa king of Judah.

Asa then took the silver and gold out of the treasuries of the Lord’s temple and of his own palace and sent it to Ben-Hadad king of Aram, who was ruling in Damascus.(D) “Let there be a treaty(E) between me and you,” he said, “as there was between my father and your father. See, I am sending you silver and gold. Now break your treaty with Baasha king of Israel so he will withdraw from me.”

Ben-Hadad agreed with King Asa and sent the commanders of his forces against the towns of Israel. They conquered Ijon, Dan, Abel Maim[a] and all the store cities of Naphtali.(F) When Baasha heard this, he stopped building Ramah and abandoned his work. Then King Asa brought all the men of Judah, and they carried away from Ramah the stones and timber Baasha had been using. With them he built up Geba and Mizpah.(G)

At that time Hanani(H) the seer came to Asa king of Judah and said to him: “Because you relied(I) on the king of Aram and not on the Lord your God, the army of the king of Aram has escaped from your hand. Were not the Cushites[b](J) and Libyans a mighty army with great numbers(K) of chariots and horsemen[c]? Yet when you relied on the Lord, he delivered(L) them into your hand. For the eyes(M) of the Lord range throughout the earth to strengthen those whose hearts are fully committed to him. You have done a foolish(N) thing, and from now on you will be at war.(O)

10 Asa was angry with the seer because of this; he was so enraged that he put him in prison.(P) At the same time Asa brutally oppressed some of the people.

11 The events of Asa’s reign, from beginning to end, are written in the book of the kings of Judah and Israel. 12 In the thirty-ninth year of his reign Asa was afflicted(Q) with a disease in his feet. Though his disease was severe, even in his illness he did not seek(R) help from the Lord,(S) but only from the physicians. 13 Then in the forty-first year of his reign Asa died and rested with his ancestors. 14 They buried him in the tomb that he had cut out for himself(T) in the City of David. They laid him on a bier covered with spices and various blended perfumes,(U) and they made a huge fire(V) in his honor.

Footnotes

  1. 2 Chronicles 16:4 Also known as Abel Beth Maakah
  2. 2 Chronicles 16:8 That is, people from the upper Nile region
  3. 2 Chronicles 16:8 Or charioteers