Add parallel Print Page Options

(A)N’addaabiriza ebifo ebigulumivu kitaawe Keezeekiya bye yali amenyeemenye, n’azimbira ne Baali ebyoto, n’akola ne Baasera, n’asinza era n’aweereza n’eggye lyonna ery’oku ggulu. (B)N’azimba ebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yayogerako nti, “Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna.” (C)N’azimba ebyoto eby’okusinzizangako eggye lyonna ery’oku ggulu, mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. (D)N’awaayo abaana be ng’ekiweebwayo, n’abookera mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n’akola eby’obufumu, n’alagulira mu bire, n’akola eby’obulogo, n’agendanga n’eri abaliko emizimu ne ddayimooni. N’akola ebitaali bya butuukirivu bingi mu maaso ga Mukama, n’asunguwaza nnyo Mukama.

(E)N’addira ekifaananyi ekyole kye yakola, n’akiteeka mu yeekaalu ya Katonda, Katonda gye yayogerako eri Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti, “Mu yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi muno, bye nalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga Erinnya lyange emirembe gyonna.

Read full chapter

12 (A)Yamenyaamenya n’ebyoto bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye ku kasolya okumpi n’ekisenge ekya waggulu ekya Akazi, era n’ebyoto Manase bye yali azimbye mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. Byonna yabiggyayo, n’abimenyaamenya, enfuufu yaabyo n’agiyiwa mu kiwonvu ekya Kiduloni.

Read full chapter