Add parallel Print Page Options

(A)Nebukadduneeza n’atwala n’ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama e Babulooni, n’abiteeka mu ssabo lye.

Read full chapter

19 (A)Kubanga bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’ayogera ku mpagi, n’Ennyanja, okuteekebwa ebintu, n’ebintu ebirala ebisigadde mu kibuga kino, 20 (B)kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni by’ataatwala lwe yatwala Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi.

Read full chapter

Okwolesebwa kw’Omukazi mu Kisero

Malayika eyali ayogera nange n’akomawo n’aŋŋamba nti, “Yimusa amaaso go olabe, waliwo ekintu ekirala ekizze.”

Ne mubuuza nti, “Kiki ekyo?”

N’anziramu nti, “Ekyo kisero, kye kifuluma.” Era n’ayongerako nti, “Ekyo kye kifaananyi ekiraga ekibi ekibunye ensi yonna.”

Awo ekibikka kyakyo, ekyuma eky’essasi ne kibikkulwa era ne ndaba omukazi ng’akituddemu. (A)Malayika n’aŋŋamba nti, “Buno bwe bwonoonyi.” N’amusindika n’amuzza munda mu kisero, n’aggalawo omumwa gwakyo n’ekisaanikira eky’ekyuma eky’essasi.

(B)Ne ndyoka nnyimusa amaaso gange, era laba, abakazi babiri nga bajja gye ndi, baali batambulira mu bbanga nga bakozesa empewo mu biwaawaatiro byabwe. Era ebiwaawaatiro byabwe nga biri ng’ebya kalooli, ne basitula ekisero mu bbanga wakati w’ensi n’eggulu.

10 Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Abo ekisero bakitwala wa?”

11 (C)N’anziramu nti, “Mu nsi ya Sinaali ey’e Babulooni, okuzimba ennyumba y’omukazi ali mu kisero, era ennyumba ye bw’eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye.”

Read full chapter