2 Ebyomumirembe 7:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Era amaaso gange ganaazibukanga, n’amatu gange ganaawuliranga esaala ezinaawebwangayo mu kifo kino.
Read full chapter
Nekkemiya 1:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ozibule amaaso go, otege okutu okuwulira okusaba kw’omuddu wo kwe nsaba mu maaso go emisana n’ekiro ku lwa baddu bo abantu ba Isirayiri. Njatula ebibi bye twakola, ffe Abayisirayiri, nga nange n’ennyumba ya kitange mwe tuli.
Read full chapter
Nekkemiya 1:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ayi Mukama, otege okutu eri okusaba kw’omuddu wo n’eri okusaba kw’abaddu bo abatya erinnya lyo. Omuddu wo omusobozese okulaba ekisa mu maaso g’omusajja ono.”
Ebiro ebyo nnali musenero wa kabaka.
Read full chapter
Zabbuli 17:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okusaba kwa Dawudi.
17 (A)Wulira, Ayi Mukama, okukoowoola kwange nga nneegayirira,
wuliriza okukaaba kwange.
Tega okutu owulirize okukoowoola kwange,
kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
Zabbuli 17:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Nkukoowoola, Ayi Katonda, kubanga mmanyi ng’onnyanukula;
ontegere okutu kwo owulire okusaba kwange.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.