Add parallel Print Page Options

26 (A)Era yafuganga bakabaka bonna okuva ku mugga Fulaati okutuuka ku nsi eya Abafirisuuti, n’okutuuka ku nsalo ya Misiri.

Read full chapter

11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
    amawanga gonna ganaamuweerezanga.

Read full chapter

(A)Mbawadde ekitundu ekyo kyonna okuviira ddala ku ddungu ne ku Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, Fulaati, n’ensi ey’Abakiiti n’okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene ebugwanjuba.

Read full chapter

(A)Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,[a]
    n’okuva ku mugga Fulaati[b] okutuuka ku nkomerero z’ensi!

Read full chapter

Footnotes

  1. 72:8 Kyalowoozebwanga nti ensi yakomanga ku Nnyanja ey’Omunnyo okumpi n’Ennyanja Ennene, eya Meditereniyaani.
  2. 72:8 Omugga Fulaati gwe gwali ensalo ku luuyi olw’ebuvanjuba bwa Isirayiri, mu bufuzi bwa Sulemaani. Kyali kyasuubizibwa Abayisirayiri mu biro eby’okuva mu Misiri.

18 (A)Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, “Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati:

Read full chapter

29 (A)Bakabaka balikuleetera ebirabo
    olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi.

Read full chapter