Add parallel Print Page Options

11 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndireeta ekikolimo mu nnyumba yo, ne nzirira bakyala bo ng’olaba ne mbawa muliraanwa wo, ne yeebaka nabo emisana.

Read full chapter

26 (A)Kabaka n’agamba Abiyasaali kabona nti, “Ggwe genda e Anasosi mu byalo byo. Osaanidde okufa, naye siikutte mu biro bino, kubanga wasitulanga essanduuko ya Mukama mu maaso ga kitange Dawudi, era n’obonyaabonyezebwa wamu naye mu bibonoobono bye.”

Read full chapter

Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu.

Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!
    Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!
(A)Bangi abanjogerako nti,
    “Katonda tagenda kumununula.”

(B)Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;
    ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.
(C)Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka,
    n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.

(D)Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,
    kubanga Mukama ye ampanirira.
(E)Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange
    abanneetoolodde, okunnumba.

(F)Golokoka, Ayi Mukama,
    ondokole Ayi Katonda wange
okube abalabe bange bonna
    omenye oluba lw’abakola ebibi.

(G)Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama.
    Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

132 Ayi Mukama jjukira Dawudi
    n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.

Read full chapter

(A)Abantu bonna mu bika byonna ebya Isirayiri baali bakaayana nga boogera nti, “Kabaka yatuwonya mu mukono gw’abalabe baffe, n’atuwonya ne mu mukono gw’Abafirisuuti, kaakano adduse Abusaalomu n’ava mu nsi.

Read full chapter