Add parallel Print Page Options

(A)Nasani n’agamba Dawudi nti, “Omusajja oyo ye ggwe. Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, ne nkulokola mu mukono gwa Sawulo,

Read full chapter

(A)Amawanga gonna galimuweereza ne mutabani we ne muzzukulu we okutuusa ekiseera eky’ensi ye okusalirwa omusango lwe kirituuka; olwo amawanga mangi ne bakabaka bangi ab’amaanyi balimuwangula.

Read full chapter

37 (A)Ggwe, ayi kabaka, ggwe kabaka wa bakabaka, Katonda ow’eggulu gwe yawa obwakabaka, n’obuyinza, n’amaanyi, n’ekitiibwa; 38 (B)era akukwasizza abantu n’ensolo ez’omu nsiko, n’ennyonyi ez’omu bbanga. Buli we bibeera, akuwadde okubifuga, era ggwe mutwe ogwa zaabu.

Read full chapter

18 (A)“Katonda Ali Waggulu Ennyo yawa Nebukadduneeza kitaawo obwakabaka, n’obuyinza, n’ekitiibwa n’obukulu, ayi kabaka; 19 (B)era olw’obuyinza bwe yamuwa, abantu bonna n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna baamutyanga era ne bakankana mu maaso ge. Abo kabaka be yayagalanga battibwe, battibwanga; n’abo be yasonyiwanga, baasonyiyibwanga; n’abo be yayagalanga okugulumiza bagulumizibwanga, n’abo be yayagalanga okutoowaza, baatoowazibwanga.

Read full chapter