Add parallel Print Page Options

31 (A)Dawudi n’ategeezebwa nti, “Akisoferi ali omu ku abo abeekobaana ne Abusaalomu.” Dawudi n’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde, fuula amagezi ga Akisoferi obusirusiru.”

Read full chapter

34 (A)Naye bw’onoddayo mu kibuga, n’ogamba Abusaalomu nti, ‘Ndibeera omuddu wo, ayi kabaka; nga bwe naweerezanga kitaawo mu biro eby’edda, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga,’ onooba ombedde mu nsonga ey’okulemesa Akisoferi, afuuse omuwi w’amagezi owa Abusaalomu.

Read full chapter

Amagezi Kusaayi ne Akisoferi ge baawa

15 (A)Mu kiseera kye kimu, Abusaalomu n’abantu bonna aba Isirayiri ne bajja e Yerusaalemi, ne Akisoferi n’ajja naye.

Read full chapter

23 (A)Mu biro ebyo okuteesa kwa Akisoferi, kwatwalibwanga okuba nga kuva eri Katonda, era Dawudi ne Abusaalomu bwe batyo bwe baatwalanga okuteesa kwe.

Read full chapter

33 (A)Akisoferi naye yali muteesa wa kabaka,

ate nga Kusaayi Omwaluki ye mukwano gwa kabaka nnyo.

Read full chapter

14 Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala,
    mikwano gyange ginneerabidde.

Read full chapter

(A)Era ne mukwano gwange gwe neesiganga
    bwe twalyanga,
    anneefuukidde.

Read full chapter

13 (A)Naye ggwe munnange,
    bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!

Read full chapter

(A)“Mwegendereze mikwano gyammwe
    era temwesiganga baganda bammwe:
kubanga buli wa luganda mulimba
    na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.

Read full chapter

51 (A)n’e Goseni, n’e Koloni, n’e Giro, ebibuga kkumi na kimu n’ebyalo byabyo.

Read full chapter

Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu.

Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!
    Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!

Read full chapter