Add parallel Print Page Options

(A)Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina omwana owoobulenzi eyalemala ebigere. Yalina emyaka etaano egy’obukulu, amawulire agakwata ku kufa kwa Sawulo ne Yonasaani bwe gaasaasaanyizibwa okuva mu Yezuleeri. Naye eyamulabiriranga bwe yamusitula, ng’adduka okumuwonya, omwana n’agwa n’alemala. N’erinnya lye ye yali Mefibosesi.

Read full chapter

(A)Awo Yonasaani n’atta omukago ne Dawudi kubanga yamwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala yekka.

Read full chapter

(A)Noolwekyo beera wa kisa eri omuweereza wo, kubanga wakola endagaano n’omuweereza wo mu maaso ga Mukama. Naye oba nnina omusango, gw’oba onzita. Lwaki ompaayo eri kitaawo?”

Read full chapter

15 (A)tokendeezanga ku kisa so tolekangayo kulaga bwesigwa eri ennyumba yange, Mukama ne bw’alizikiriza buli mulabe wa Dawudi ku nsi.”

Read full chapter

(A)Dawudi n’amugamba nti, “Totya kubanga siireme kukukolera bya kisa ku lwa Yonasaani kitaawo. Nzija kukuddiza ettaka lyonna eryali erya jjajjaawo Sawulo, era onooliranga ku mmeeza yange.”

Read full chapter