Add parallel Print Page Options

16 (A)Ennyumba yo n’obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso gange, era entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.” ’ ”

17 Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo byonna eby’okubikkulirwa kwe.

Read full chapter

(A)Ndikwongerako emyaka emirala kkumi n’ettaano, era laba ndikulokola ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli, nga nnwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ”

Read full chapter

(A)Okufuga kwe n’emirembe
    biryeyongeranga obutakoma.
Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe,
    n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu
    okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
    bulikituukiriza ekyo.

Read full chapter

35 (A)“Ndirwanirira ekibuga kino
    nkirokole.”

Read full chapter

(A)Mumpulirize mujje gye ndi.
    Muwulirize mubeere balamu;
nnaabakolera endagaano ey’olubeerera,
    era egyo gy’emikisa gyange n’okwagala bye nasuubiza Dawudi.

Read full chapter

25 “Kaakano, Ayi Mukama Katonda, otuukirize ekyo kye wasuubiza omuddu wo n’ennyumba ye okole nga bwe wasuubiza,

Read full chapter