Add parallel Print Page Options

Obuwanguzi bwa Dawudi

Oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, n’abafuula abaddu be, n’awamba n’ekibuga kyabwe ekikulu.

(A)Dawudi n’awangula n’Abamowaabu, n’alagira buli omu ku bo yebake wansi, n’abapimako n’olukoba olupima. Buli eyali ebipimo bibiri yattibwanga, naye oyo eyali ow’ebipimo ebisatu nga y’alama. Abamowaabu[a] ne bafuuka baddu ba Dawudi ne bamuwanga obusuulu. (B)Ate era Dawudi n’awangula Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba, bwe yali nga yeddiza amatwale ge ku Mugga Fulaati. (C)Dawudi n’awamba amagaali ga Kadadezeri lukumi, n’abeebagala embalaasi kasanvu, n’abaserikale ab’ebigere emitwalo ebiri. N’atema kumpi embalaasi zonna, n’azilemaza n’alekawo kikumi ku zo.

(D)Awo Abasuuli ab’e Ddamasiko ne bajja okubeera Kadadezeri kabaka w’e Zoba, naye Dawudi n’atta emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ku bo. (E)Dawudi n’assa ebibinja eby’abaserikale mu Busuuli e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu be, era ne bamuwanga obusuulu. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.

(F)Dawudi n’anyaga engabo eza zaabu ezasitulibwanga abaserikale ba Kadadezeri n’azireeta e Yerusaalemi. (G)Kabaka Dawudi n’anyaga n’ebikomo bingi ddala okuva mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri.

(H)Awo Toyi kabaka w’e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri, 10 n’atuma mutabani we Yolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako, n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri. Kadadezeri yalwananga ne Toyi. Yolaamu n’amutwalira ebintu bya ffeeza ne zaabu n’ebikomo.

11 (I)Kabaka Dawudi n’abiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu bye yaggya mu mawanga amalala ge yawangula. 12 (J)Amawanga gaali: Busuuli, ne Mowaabu, n’Abamoni, n’Abafirisuuti ne Amaleki; n’awonga n’omunyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba.

13 (K)Erinnya lya Dawudi ne litutumuka, bwe yakomawo okuva okutta Abasuuli omutwalo gumu mu kanaana mu kiwonvu eky’Omunnyo.

14 (L)N’ateeka ebibinja bya baserikale mu Busuuli yonna, Abasuuli bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.

Amannya g’Abakungu ba Dawudi

15 Dawudi n’afuga Isirayiri yenna, ng’afuga abantu be bonna mu bwenkanya ne mu mazima. 16 (M)Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omuduumizi w’eggye, Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza, 17 (N)Zadooki[b] mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali nga be bakabona, Seroya nga ye muwandiisi, 18 (O)Benaaya mutabani wa Yekoyaada nga ye mukulu w’Abakeresi n’Abaperesi[c] abaakuumanga ba kabaka, batabani ba Dawudi nga be bawi ba magezi ab’obwakabaka.

Footnotes

  1. 8:2 Abamowaabu baali bazzukulu ba Lutti (Lub 19:37) abaabeeranga mu kitundu eky’ebuvanjuba bw’Ennyanja ey’Omunnyo. Sawulo yali abawangudde era ng’abafufuggazizza (1Sa 14:47). Dawudi bwe yali mu buwaŋŋanguse, abooluganda be, yabaweereza mu Mowaabu (1Sa 22:3-4). Bajjajja ba Dawudi baavanga mu Mowaabu (Lus 1:22; 4:22)
  2. 8:17 Zadooki yali muzzukulu wa Eriyazaali. Yasigala nga musajja wa Dawudi ow’oku lusegere, era oluvannyuma ye yafuka n’amafuta ku musika wa Dawudi, Sulemaani
  3. 8:18 Abakeresi n’Abaperesi baali magye mapangise. Abakeresi baava Kuleete, ate Abaperesi nga bava Bufirisuuti. Ebibinja ebyo byombi bye byakumanga bakabaka.