Add parallel Print Page Options

17 (A)Laba, ekiseera kijja byonna ebiri mu lubiri lwo, ne byonna bajjajjaabo bye baatereka, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba kintu ekirisigalawo,” bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

15 Omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala n’ebyoterezo wamu n’ebibya ebyali ebya zaabu n’ebyali ebya ffeeza.

Read full chapter

(A)Laba, ennaku zijja, byonna ebiri mu nnyumba yo n’ebyo bajjajjaabo bye baaterekanga ebikyaliwo n’okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni, ne watasigala kintu na kimu, bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

14 (A)Era baatwala n’entamu, n’ebisena, n’ebisalako ebisirinza, n’ebijiiko n’ebintu byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu yeekaalu.

Read full chapter

(A)Era ndigabula obugagga bw’ekibuga kino bwonna obulimu, n’eby’omuwendo omungi era n’eby’obugagga byonna ebya bakabaka ba Yuda mu mukono gw’abalabe baabwe. Balibutwala babwetikke ng’omunyago mu Babulooni.

Read full chapter

51 (A)Omulimu gwonna Kabaka Sulemaani gwe yakola ku yeekaalu ya Mukama bwe gwaggwa, n’aleeta ebintu Dawudi kitaawe bye yayawulirako Mukama, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Mukama.

Read full chapter