Add parallel Print Page Options

14 (A)Nnaabeeranga kitaawe, naye aliba mwana wange. Bw’anasobyanga nnaamukangavvulanga n’omuggo ogw’abantu n’enga ez’abantu.

Read full chapter

11 (A)Mwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama,
    n’okunenya kwe kulemenga okukukooya,
12 (B)kubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala,
    nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.

Read full chapter

Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ng’abaana be? Agamba nti,

“Mwana wange, tonyoomanga kukangavvulwa kwa Mukama,
    so toggwangamu maanyi ng’akunenyezza.
(A)Kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula,
    Era abonereza buli gw’ayita omwana we.”

(B)Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng’abaana be. Mwana ki kitaawe gw’atakangavvula? (C)Naye singa temukangavvulwa, nga bwe kitugwanira ffenna, muba temuli baana be ddala.

(D)Kale, nga bwe mussaamu ekitiibwa bakitaffe ab’omubiri, newaakubadde nga batukangavvula, nga batuyigiriza, kitaawe w’emyoyo talisinga nnyo okutukangavvula ne tuba abalamu? 10 (E)Bakitaffe ab’omubiri baatugunjulira ennaku si nnyingi, naye ye atugunjula tugasibwe tulyoke tusobole okugabanira awamu naye mu butukuvu bwe.

11 (F)Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu.

Read full chapter

19 (A)Buli gwe njagala mmunenya era mmukangavvula; kale nyiikira okwenenya.

Read full chapter