Add parallel Print Page Options

19 (A)Njagala mutegeere amaanyi ge agasukkiridde agakolera mu ffe abakkiriza, ng’okukola kw’obuyinza bw’amaanyi ge bwe kuli,

Read full chapter

43 (A)Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye ne guzuukizibwa nga gujjudde ekitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi. 44 (B)Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga mubiri gwa mwoyo.

Kale obanga waliwo omubiri obubiri, era waliwo omubiri ogw’omwoyo, 45 (C)kyekyava kiwandiikibwa nti, “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ng’alina obulamu.” Kyokka Adamu ow’oluvannyuma ye Mwoyo aleeta obulamu. 46 Naye eky’omwoyo si kye kyasooka, wabula eky’omubiri obubiri kye kyasooka, n’oluvannyuma eky’omwoyo ne kijja. 47 (D)Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Ye omuntu owookubiri yava mu ggulu. 48 (E)Ng’eyakolebwa mu nfuufu bw’ali, n’abo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali. 49 (F)Era nga bwe tufaanana oyo eyakolebwa mu nfuufu, era bwe tutyo bwe tulifaanana oyo eyava mu ggulu.

50 (G)Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti omubiri guno ogw’oku nsi, ogw’ennyama n’omusaayi, teguyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda. Emibiri gyaffe egivunda tegisobola kuba gya lubeerera. 51 (H)Naye leka mbabuulire ekyama: Si ffenna abalifa, naye eŋŋombe ey’enkomerero bw’erivuga ffenna tulifuusibwa 52 (I)mu kaseera katono ng’okutemya kikowe. Kubanga eŋŋombe erivuga, n’abafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa era ffenna tulifuusibwa. 53 (J)Kubanga omubiri guno oguvunda gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri guno ogufa gwa kufuuka ogutafa.

Read full chapter

(A)Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.

Read full chapter