Abafiripi 2:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Katonda kyeyava amugulumiza,
n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;
Matayo 26:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)kubanga guno gwe musaayi gwange ogw’endagaano oguyiika ku lw’abantu abangi, olw’okusonyiyibwa ebibi.
Read full chapter
Matayo 26:38
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
38 (A)N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna.”
Read full chapter
Matayo 26:39
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
39 (A)N’abaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, n’agwa wansi ng’avuunise amaaso ge ku ttaka, n’asaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”
Read full chapter
Matayo 26:42
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
42 N’abavaako omulundi ogwokubiri akabanga n’agenda n’asaba ng’agamba nti, “Kitange! Oba tekisoboka ekikompe kino kuvaawo wabula Nze okukinywa, kale ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”
Read full chapter
Makko 15:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
“Kabaka w’Abayudaaya.”
27 Waaliwo abanyazi babiri abaakomererwa awamu naye, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, n’omulala ku kkono.
Read full chapter
Lukka 22:37
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
37 (A)Kubanga mbagamba nti kyetaagisa okutuukirizibwa mu nze ekyawandiikibwa nti, ‘Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka,’ ebinkwatako biteekwa okutuukirira.”
Read full chapter
Lukka 23:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)Waaliwo n’abasajja abalala babiri, bombi nga bamenyi ba mateeka, abaatwalibwa ne Yesu okuttibwa.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.