Add parallel Print Page Options

20 (A)Obanga mwafiira wamu ne Kristo ne musumululwa okuva mu magezi ag’ebintu ebyangu eby’ensi, lwaki mufugibwa ebiragiro ng’ab’omu nsi? 21 Bino bye bimu ku biragiro ab’omu nsi bye bawa: Tolya kino, tokwata ku kiri oba nti tokomba ku kino. 22 (B)Ebyo byonna ku nkomerero biriggwaawo kubanga biriba tebikyalina mugaso.

Read full chapter

13 (A)Mukama agamba nti,

“Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe,
    ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe,
    naye ng’emitima gyabwe gindi wala.
Okunsinza kwe bansinza,
    biragiro abantu bye baayigiriza.

Read full chapter

(A)Bwe mutaakyuse ku mpisa zammwe n’engeri zammwe, bwe mutaafeeyo kuwa linnya lyange kitiibwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “kale ndibasindikira ekikolimo era emikisa gyammwe girifuuka ekikolimo. Ate ddala mmaze okubakolimira kubanga ebikulu gye ndi temubitaddeeko mwoyo.

Read full chapter