Add parallel Print Page Options

(A)Munoonye Mukama munaabanga balamu
    aleme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu;
guligyokya
    nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.

Read full chapter

(A)Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo eky’obuwanguzi,
    ng’olwanirira amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu.
    Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.

Read full chapter

14 Munoonyenga okukola obulungi, so si obubi
    munaabeeranga balamu!
Bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwe
    nga bulijjo bwe mumuyita.
15 (A)Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungi
    era embuga z’amateeka zibeerengamu obwenkanya.
Oboolyawo Mukama Katonda ow’Eggye anaabakwatirwa ekisa
    abantu abo abaasigalawo ku Yusufu.

Read full chapter

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Sawulo, n’alaga mu mpuku.

57 (A)Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire,
    kubanga neesiga ggwe.
Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo
    okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.

Read full chapter