Add parallel Print Page Options

12 (A)Abasajja ba Efulayimu ne bayitibwa okusomoka okulaga mu Zafoni. Ne bagamba Yefusa nti, “Lwaki wagenda okulwanyisa abaana ba Amoni, n’otatuyita kugenda naawe? Tugenda kukwokera mu nnyumba yo.”

Yefusa n’abaddamu nti, “Nze n’abantu bange twatawaana nnyo okulwanyisa abaana ba Amoni, era nabakoowoola mujje mutubeere, naye temwajja kutubeera kuva mu mukono gwabwe. (B)Bwe nalaba nga temuzze kutubeera, ne nteeka obulamu bwange mu ngalo zange, ne nsomoka okulwana n’abaana ba Amoni, era Mukama Katonda n’abagabula mu mukono gwange. Kaakano kiki ekibaleeta gye ndi okulwana nange leero?”

Awo Yefusa n’akuŋŋaanya abantu b’e Gireyaadi bonna, ne balwanyisa Efulayimu. Abasajja ab’e Gireyaadi baabalwanyisa kubanga Efulayimu baayogera nti, “Mmwe muli bakyewaggula ba Efulayimu ab’e Gireyaadi, wakati mu Efulayimu ne mu Manase.” (C)Ab’e Gireyaadi ne bawamba ebifo bya Yoludaani okusomokerwa okutuuka mu Efulayimu, era bwe waabangawo ku bakomawo aba Efulayimu eyayagalanga okusomoka, abasajja ab’e Gireyaadi nga bamubuuza nti, “Oli Mwefulayimu?” Bwe yeegananga, nga bamugamba ayogere nti, “Shibbolesi.” Bwe yayogeranga nti, “Sibbolesi,” kubanga teyayinzanga kukyogera bulungi, ng’akwatibwa era ng’attibwa awo awasomokerwa ku Yoludaani. Mu biro ebyo, mu Efulayimu ne mufaamu abantu emitwalo ena mu enkumi bbiri.

Awo Yefusa n’alamula Isirayiri okumala emyaka mukaaga. Yefusa Omugireyaadi n’afa, n’aziikibwa mu kimu ku kibuga bya Gireyaadi.

Okufuga kwa Ibuzaani ne Eroni ne Abudoni

Oluvannyuma lwa Yefusa, Ibuzaani ow’e Besirekemu[a] n’alamula Isirayiri. Yalina abaana aboobulenzi amakumi asatu, n’abaana aboobuwala amakumi asatu. Bawala be n’abafumbiza abantu abataali ba kika kye, ne batabani be n’abawasiza abawala abataali ba kika kye. N’akulembera Isirayiri okumala emyaka musanvu. 10 Ibuzaani n’afa, n’aziikibwa mu Besirekemu.

11 Oluvannyuma lwa Ibuzaani, Eroni Omuzebbulooni, n’alamula Isirayiri okumala emyaka kkumi. 12 Eroni Omuzebbulooni n’afa, n’aziikibwa mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni.

13 Awo oluvannyuma lwa Eroni, Abudoni mutabani wa Kereri Omupirasoni n’alamula Isirayiri. 14 (D)Yalina abaana aboobulenzi amakumi ana, n’abazzukulu amakumi asatu abeebagalanga endogoyi nsanvu. Yalamula Isirayiri okumala emyaka munaana. 15 (E)Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n’afa, n’aziikibwa mu Pirasoni mu nsi ya Efulayimu, mu nsi ey’Abamaleki ey’ensozi.

Footnotes

  1. 12:8 Besirekemu oyo si ye Besirekemu wa Yuda. Ekibuga ekyo kyali mu kitundu eky’e Zebbulooni.

Jephthah and Ephraim

12 The Ephraimite forces were called out, and they crossed over to Zaphon.(A) They said to Jephthah,(B) “Why did you go to fight the Ammonites without calling us to go with you?(C) We’re going to burn down your house over your head.”

Jephthah answered, “I and my people were engaged in a great struggle with the Ammonites, and although I called, you didn’t save me out of their hands. When I saw that you wouldn’t help, I took my life in my hands(D) and crossed over to fight the Ammonites, and the Lord gave me the victory(E) over them. Now why have you come up today to fight me?”

Jephthah then called together the men of Gilead(F) and fought against Ephraim. The Gileadites struck them down because the Ephraimites had said, “You Gileadites are renegades from Ephraim and Manasseh.(G) The Gileadites captured the fords of the Jordan(H) leading to Ephraim, and whenever a survivor of Ephraim said, “Let me cross over,” the men of Gilead asked him, “Are you an Ephraimite?” If he replied, “No,” they said, “All right, say ‘Shibboleth.’” If he said, “Sibboleth,” because he could not pronounce the word correctly, they seized him and killed him at the fords of the Jordan. Forty-two thousand Ephraimites were killed at that time.

Jephthah led[a] Israel six years. Then Jephthah the Gileadite died and was buried in a town in Gilead.

Ibzan, Elon and Abdon

After him, Ibzan of Bethlehem(I) led Israel. He had thirty sons and thirty daughters. He gave his daughters away in marriage to those outside his clan, and for his sons he brought in thirty young women as wives from outside his clan. Ibzan led Israel seven years. 10 Then Ibzan died and was buried in Bethlehem.

11 After him, Elon the Zebulunite led Israel ten years. 12 Then Elon died and was buried in Aijalon(J) in the land of Zebulun.

13 After him, Abdon son of Hillel, from Pirathon,(K) led Israel. 14 He had forty sons and thirty grandsons,(L) who rode on seventy donkeys.(M) He led Israel eight years. 15 Then Abdon son of Hillel died and was buried at Pirathon in Ephraim, in the hill country of the Amalekites.(N)

Footnotes

  1. Judges 12:7 Traditionally judged; also in verses 8-14