Add parallel Print Page Options

Abadaani Bawamba ekibuga Layisi

18 (A)Mu biro ebyo Isirayiri teyalina kabaka. Era mu biro ebyo ekika ky’Abadaani baali banoonya ekifo aw’okubeera kubanga mu bika bya Isirayiri baali tebafunanga kifo kya kubeeramu ng’omugabo gwabwe. (B)Kyebaava batuma abaana ba Ddaani bataano, abasajja abalwanyi, okuva mu kika kyabwe kyonna, okuva mu Zola ne mu Esutaoli, bagende bakette ensi. Ne babagamba nti, “Mugende mukebere ensi.”

Ne batuuka mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu mu nnyumba ya Mikka ne basula eyo. Bwe baali eyo okumpi n’ennyumba ya Mikka ne beetegereza eddoboozi ly’omuvubuka Omuleevi, ne bakyama ne bamubuuza nti, “Ani eyakuleeta wano? Era okola ki wano? Era lwaki oli wano?”

(C)N’abategeeza Mikka bye yamukolera, n’abagamba nti, “Yampangisa era ndi kabona we.” (D)Ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, kaakano weebuuze ku Mukama, obanga olugendo lwe tugenda luliba n’omukisa.” (E)Awo kabona n’abaddamu nti, “Mugende mirembe, kubanga Mukama Katonda asiimye mugende ku lugendo lwammwe.”

(F)Awo abasajja abataano ne bava awo, ne batuuka e Layisi, ne balaba ng’abantu baayo bali mirembe ng’Abasidoni bwe baali. Baali bakkakkamu, nga balina buli kye beetaaga mu nsi, era nga beesudde akabanga n’Abasidoni, nga tewali muntu n’omu gwe bakolagana naye.

Awo abakessi bwe baddayo eri baganda baabwe e Zola n’e Esutaoli, baganda baabwe ne bababuuza nti, “Bigenze bitya?”

(G)Ne baddamu nti, “Mugolokoke, tubalumbe. Tulabye ensi, era laba, nga nnungi nnyo. Temuyinza butagenda. Temulwa, tugende tulye ensi. 10 (H)Bwe mulituuka eyo muliraba abantu abakkakkamu ababeera mu nsi engazi, Katonda gy’atadde mu mukono gwammwe, era nsi erimu buli kintu omuntu kye yeetaaga.”

11 (I)Awo ekika ky’Abadaani ne basitula okuva e Zola n’e Esutaoli, abasajja lukaaga nga balina ebyokulwanyisa. 12 (J)Ne bagenda ne basiisira okumpi ne Kiriyasuyalimu mu Yuda. Ekifo ekyo ne bakituuma Makanedani era kye kiyitibwa n’okutuusa leero. 13 Ne bava awo ne balaga mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ne batuuka ku nnyumba ya Mikka.

14 (K)Abasajja abataano abaagenda okuketta ensi ya Layisi ne bagamba baganda baabwe nti, “Mumanyi nga mu nnyumba zino mulimu Efodi n’ebifaananyi ebyole n’ekifaananyi ekisaanuuse? Kale nno mukole kye mugwanira okukola.” 15 Ne bakyama ne bagenda mu nnyumba y’omuvubuka Omuleevi eyali ewa Mikka ne bamulamusa. 16 (L)Abasajja olukaaga nga balina ebyokulwanyisa byabwe ne bayimirira ku mulyango. 17 (M)Awo abasajja abataano abaagenda okuketta ne bayingira ne baggyamu ekifaananyi ekyole, ne Efodi, ne balubaale abaali mu nnyumba n’ekifaananyi ekisaanuuse, nga kabona n’abasajja olukaaga nga balina ebyokulwanyisa byabwe bayimiridde ku mulyango.

18 (N)Abasajja bwe bayingira mu nnyumba ya Mikka okuggyamu ekifaananyi ekyole, ne Efodi, ne balubaale abaali mu nnyumba n’ekifaananyi ekisaanuuse, kabona n’ababuuza nti, “Mukola ki?” 19 (O)Ne bamuddamu nti, “Sirika tonyega. Jjangu naffe obeere kitaffe era kabona waffe. Kiki ekisinga, ggwe okuba kabona w’ennyumba y’omuntu omu, oba okuba kabona w’ekika kya Isirayiri?” 20 Kabona n’asanyuka, n’atwala Efodi ne balubaale abaali mu nnyumba n’ekifaananyi ekyole n’agenda nabo. 21 Ne babaako we bakyama ne balekayo abaana baabwe abato n’ebisolo byabwe n’ebintu byabwe. Ne bagenda mu maaso.

22 Bwe batambulako akabanga okuva ku nnyumba ya Mikka, abasajja abaabeeranga mu nnyumba eziriraanye ennyumba ya Mikka ne bakuŋŋaana ne bawondera abaana ba Ddaani. 23 Bwe baali babakoowoola, abaana ba Ddaani ne bakyuka ne batunuulira Mikka ne bamubuuza nti, “Mutukoowoolera ki?” 24 N’abaddamu nti, “Mututte balubaale bange be neekolera, ne kabona. Kiki kye nsigazza? Muyinza mutya okumbuuza kye mbadde?”

25 Abaana ba Ddaani ne bamuddamu nti, “Sitwagala kuwulira ddoboozi lyo, si kulwa ng’abasajja abakambwe abali mu ffe bakulumba n’ofiirwa obulamu bwo n’obw’abo ab’omu nnyumba yo.” 26 (P)Awo abaana ba Ddaani ne beetambulira. Awo Mikka bwe yalaba nga bamuyinze amaanyi, n’akyuka n’addayo ewuwe.

27 (Q)Ne batwala ebintu Mikka bye yali akoze, ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi omwali abantu abakkakkamu abatamanyiridde, ne bakilumba ne batta abantu baamu n’ekitala, n’ekibuga ne bakikumako omuliro. 28 (R)Tewaaliwo eyajja okubataasa kubanga ne Sidoni kyali wala n’ekibuga ekyo, ate nga tebalina nkolagana na muntu yenna. Ekibuga kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu.

Abaddaani ne bazimba buto ekibuga ne babeera omwo. 29 (S)Ekibuga ne bakikyusa erinnya okuva ku Layisi lye kyayitibwanga olubereberye ne bakituuma Ddaani, ng’erinnya lya Ddaani jjajjaabwe eyazaalibwa Isirayiri bwe lyali. 30 (T)Awo abaana ba Ddaani ne beeterawo ekifaananyi ekyole, ne balonda Yonasaani mutabani wa Gerusomu, muzzukulu wa Musa, ne batabani be okuba bakabona eri ekika ky’Abadaani okutuusa ensi lwe yawambibwa. 31 (U)Ne bassaawo ebifaananyi ebyole Mikka bye yali yeekoledde, ebbanga lyonna ennyumba ya Katonda we yabeerera mu Siiro.

The Danites Settle in Laish

18 In those days Israel had no king.(A)

And in those days the tribe of the Danites was seeking a place of their own where they might settle, because they had not yet come into an inheritance among the tribes of Israel.(B) So the Danites(C) sent five of their leading men(D) from Zorah and Eshtaol to spy out(E) the land and explore it. These men represented all the Danites. They told them, “Go, explore the land.”(F)

So they entered the hill country of Ephraim and came to the house of Micah,(G) where they spent the night. When they were near Micah’s house, they recognized the voice of the young Levite;(H) so they turned in there and asked him, “Who brought you here? What are you doing in this place? Why are you here?”

He told them what Micah had done for him, and said, “He has hired me and I am his priest.(I)

Then they said to him, “Please inquire of God(J) to learn whether our journey will be successful.”

The priest answered them, “Go in peace(K). Your journey has the Lord’s approval.”

So the five men(L) left and came to Laish,(M) where they saw that the people were living in safety, like the Sidonians, at peace and secure.(N) And since their land lacked nothing, they were prosperous.[a] Also, they lived a long way from the Sidonians(O) and had no relationship with anyone else.[b]

When they returned to Zorah and Eshtaol, their fellow Danites asked them, “How did you find things?”

They answered, “Come on, let’s attack them! We have seen the land, and it is very good. Aren’t you going to do something? Don’t hesitate to go there and take it over.(P) 10 When you get there, you will find an unsuspecting people and a spacious land that God has put into your hands, a land that lacks nothing(Q) whatever.(R)

11 Then six hundred men(S) of the Danites,(T) armed for battle, set out from Zorah and Eshtaol. 12 On their way they set up camp near Kiriath Jearim(U) in Judah. This is why the place west of Kiriath Jearim is called Mahaneh Dan[c](V) to this day. 13 From there they went on to the hill country of Ephraim and came to Micah’s house.(W)

14 Then the five men who had spied out the land of Laish(X) said to their fellow Danites, “Do you know that one of these houses has an ephod,(Y) some household gods and an image overlaid with silver?(Z) Now you know what to do.” 15 So they turned in there and went to the house of the young Levite at Micah’s place and greeted him. 16 The six hundred Danites,(AA) armed for battle, stood at the entrance of the gate. 17 The five men who had spied out the land went inside and took the idol, the ephod and the household gods(AB) while the priest and the six hundred armed men(AC) stood at the entrance of the gate.

18 When the five men went into Micah’s house and took(AD) the idol, the ephod and the household gods,(AE) the priest said to them, “What are you doing?”

19 They answered him, “Be quiet!(AF) Don’t say a word. Come with us, and be our father and priest.(AG) Isn’t it better that you serve a tribe and clan(AH) in Israel as priest rather than just one man’s household?” 20 The priest was very pleased. He took the ephod, the household gods and the idol and went along with the people. 21 Putting their little children, their livestock and their possessions in front of them, they turned away and left.

22 When they had gone some distance from Micah’s house, the men who lived near Micah were called together and overtook the Danites. 23 As they shouted after them, the Danites turned and said to Micah, “What’s the matter with you that you called out your men to fight?”

24 He replied, “You took(AI) the gods I made, and my priest, and went away. What else do I have? How can you ask, ‘What’s the matter with you?’”

25 The Danites answered, “Don’t argue with us, or some of the men may get angry and attack you, and you and your family will lose your lives.” 26 So the Danites went their way, and Micah, seeing that they were too strong for him,(AJ) turned around and went back home.

27 Then they took what Micah had made, and his priest, and went on to Laish, against a people at peace and secure.(AK) They attacked them with the sword and burned(AL) down their city.(AM) 28 There was no one to rescue them because they lived a long way from Sidon(AN) and had no relationship with anyone else. The city was in a valley near Beth Rehob.(AO)

The Danites rebuilt the city and settled there. 29 They named it Dan(AP) after their ancestor Dan, who was born to Israel—though the city used to be called Laish.(AQ) 30 There the Danites set up for themselves the idol, and Jonathan son of Gershom,(AR) the son of Moses,[d] and his sons were priests for the tribe of Dan until the time of the captivity of the land. 31 They continued to use the idol Micah had made,(AS) all the time the house of God(AT) was in Shiloh.(AU)

Footnotes

  1. Judges 18:7 The meaning of the Hebrew for this clause is uncertain.
  2. Judges 18:7 Hebrew; some Septuagint manuscripts with the Arameans
  3. Judges 18:12 Mahaneh Dan means Dan’s camp.
  4. Judges 18:30 Many Hebrew manuscripts, some Septuagint manuscripts and Vulgate; many other Hebrew manuscripts and some other Septuagint manuscripts Manasseh