Add parallel Print Page Options

16 (A)Mukama n’abawa abakulembeze abaabalwaniriranga ne babawonya abanyazi. 17 (B)Naye tebaawuliriza bakulembeze baabwe ne bagoberera era ne basinza bakatonda abalala. Tebaakola nga bajjajjaabwe abaagobereranga n’okuwuliranga ebiragiro bya Mukama. 18 (C)Buli Mukama lwe yabawanga omukulembeze yamuyambanga era n’anunulanga Abayisirayiri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ekiseera eky’omukulembeze oyo. Olw’okusindanga n’okweraliikirizibwa abalabe baabwe abaabajooganga, Mukama kyeyava abakwatirwa ekisa.

Read full chapter

Ibulaamu Agenda e Misiri

10 Ne wagwa enjala mu nsi. Bw’atyo Ibulaamu n’aserengeta e Misiri[a] asengukireko eyo, kubanga enjala nnyingi eyali mu nsi.

Read full chapter

Footnotes

  1. 12:10 Misiri teyakosebwa kyeya, kubanga baalina enzizi ezaafukiriranga ebirime byabwe.

16 (A)Yaleeta enjala mu nsi,
    emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.

Read full chapter

30 (A)Bwe batyo Abayisirayiri ne bajeemulula Abamowaabu ku lunaku olwo. Okuva ku olwo ensi n’ebaamu emirembe okumala emyaka kinaana.

Read full chapter