Add parallel Print Page Options

(A)Awo Malayika wa Mukama n’ava e Bokimu n’ajja e Girugaali, n’agamba nti, “Nabaggya mu nsi y’e Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjammwe; ne ŋŋamba nti, ‘Endagaano yange gye nalagaana nammwe sirigimenya emirembe gyonna; (B)nammwe temukolanga ndagaano n’abantu ab’omu nsi eyo: museseggulanga ebyoto byabwe.’ Naye mmwe temugondedde kiragiro kyange: Kiki ekibakozesezza bwe mutyo? (C)Kaakano kyenva ŋŋamba nti, ‘Siibafubutule mu maaso gammwe, naye banaaba balabe bammwe ne bakatonda baabwe banaaba nkonge gye muli.’ ”

Malayika wa Mukama bwe yamala okugamba Abayisirayiri bonna ebigambo bino ne balyoka batema emiranga. Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu; ne baweera eyo Ssaddaaka eri Mukama.

Awo Yoswa bwe yamala okulagira Abayisirayiri baabuke, buli omu ku bo n’agenda okugabana ekitundu kye yasuubizibwa. Abayisirayiri ne baweerezanga Mukama mu kiseera kyonna ekya Yoswa era ne mu kiseera kyonna eky’abakulembeze abaawangaala okusinga Yoswa era abaalaba ebikolwa eby’amaanyi Mukama bye yakolera Abayisirayiri.

Awo omuweereza wa Mukama Yoswa mutabani wa Nuuni n’afa. We yafiira ng’aweza emyaka kikumi mu kkumi. (D)Ne bamuziika e Timunasukeresi mu kitundu kye yagabana mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi mu bukiika obwa kkono obw’olusozi Gaasi.

10 (E)Awo ab’omulembe gwa Yoswa bonna bwe baafa ne baggwaawo ne waddawo omulembe gw’abataamanya Mukama yadde ebikolwa eby’amaanyi bye yakolera Abayisirayiri. 11 (F)Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama era ne basinza Babayaali. 12 (G)Ne banyiiza Mukama kubanga baagoberera era ne basinza bakatonda abalala abamawanga agaali gabeetoolodde ne beerabira Mukama Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu nsi ye Misiri. 13 (H)Ne bava ku Mukama ne basinza ba Baali ne Asutoleesi. 14 (I)Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri: Kyeyava abawaayo mu mikono gy’abanyazi ne babanyanga era ne batasobola na kwerwanako okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ababeetoolodde kubanga Mukama yali amaze okubawaayo. 15 Buli gye baatabaalanga ne bawangulwa kubanga Mukama yabavaako olw’ekibi kyabwe nga bwe yabalayirira; ne bawotookerera nnyo.

16 (J)Mukama n’abawa abakulembeze abaabalwaniriranga ne babawonya abanyazi. 17 (K)Naye tebaawuliriza bakulembeze baabwe ne bagoberera era ne basinza bakatonda abalala. Tebaakola nga bajjajjaabwe abaagobereranga n’okuwuliranga ebiragiro bya Mukama. 18 (L)Buli Mukama lwe yabawanga omukulembeze yamuyambanga era n’anunulanga Abayisirayiri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ekiseera eky’omukulembeze oyo. Olw’okusindanga n’okweraliikirizibwa abalabe baabwe abaabajooganga, Mukama kyeyava abakwatirwa ekisa. 19 (M)Naye omukulembeze olwafanga ne baddamu okweyisanga obubi okukira ne bajjajjaabwe, ne bagobereranga ne baweerezanga era n’okuvuunamiranga bakatonda abalala ne banywerera ku mpisa zaabwe embi olw’emputtu yaabwe.

20 (N)Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri n’agamba nti, “Olw’okuba nga abantu bano bamenye endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, so tebagondedde ddoboozi lyange, 21 (O)siifubutule mu maaso gaabwe wadde eggwanga n’erimu ku ago Yoswa ge yafa bawangudde. 22 (P)Wabula nzija kukozesa amawanga gano okugezesa Abayisirayiri okulaba obanga banaafaayo okunywerera mu kkubo lya Mukama nga bajjajjaabwe bwe baakola, oba nedda.” 23 Bw’atyo Mukama n’aleka amawanga gali mu nsi eyo, n’atagawaayo mu mikono gya Yoswa yadde okugafubutula mu nsi eyo nga Yoswa yaakafa.

The Angel of the Lord at Bokim

The angel of the Lord(A) went up from Gilgal(B) to Bokim(C) and said, “I brought you up out of Egypt(D) and led you into the land I swore to give to your ancestors.(E) I said, ‘I will never break my covenant with you,(F) and you shall not make a covenant with the people of this land,(G) but you shall break down their altars.(H)’ Yet you have disobeyed(I) me. Why have you done this? And I have also said, ‘I will not drive them out before you;(J) they will become traps(K) for you, and their gods will become snares(L) to you.’”

When the angel of the Lord had spoken these things to all the Israelites, the people wept aloud,(M) and they called that place Bokim.[a](N) There they offered sacrifices to the Lord.

Disobedience and Defeat(O)

After Joshua had dismissed the Israelites, they went to take possession of the land, each to their own inheritance. The people served the Lord throughout the lifetime of Joshua and of the elders who outlived him and who had seen all the great things the Lord had done for Israel.(P)

Joshua son of Nun,(Q) the servant of the Lord, died at the age of a hundred and ten. And they buried him in the land of his inheritance, at Timnath Heres[b](R) in the hill country of Ephraim, north of Mount Gaash.

10 After that whole generation had been gathered to their ancestors, another generation grew up who knew neither the Lord nor what he had done for Israel.(S) 11 Then the Israelites did evil(T) in the eyes of the Lord(U) and served the Baals.(V) 12 They forsook the Lord, the God of their ancestors, who had brought them out of Egypt. They followed and worshiped various gods(W) of the peoples around them.(X) They aroused(Y) the Lord’s anger(Z) 13 because they forsook(AA) him and served Baal and the Ashtoreths.(AB) 14 In his anger(AC) against Israel the Lord gave them into the hands(AD) of raiders who plundered(AE) them. He sold them(AF) into the hands of their enemies all around, whom they were no longer able to resist.(AG) 15 Whenever Israel went out to fight, the hand of the Lord was against them(AH) to defeat them, just as he had sworn to them. They were in great distress.(AI)

16 Then the Lord raised up judges,[c](AJ) who saved(AK) them out of the hands of these raiders. 17 Yet they would not listen to their judges but prostituted(AL) themselves to other gods(AM) and worshiped them.(AN) They quickly turned(AO) from the ways of their ancestors, who had been obedient to the Lord’s commands.(AP) 18 Whenever the Lord raised up a judge for them, he was with the judge and saved(AQ) them out of the hands of their enemies as long as the judge lived; for the Lord relented(AR) because of their groaning(AS) under those who oppressed and afflicted(AT) them. 19 But when the judge died, the people returned to ways even more corrupt(AU) than those of their ancestors,(AV) following other gods and serving and worshiping them.(AW) They refused to give up their evil practices and stubborn(AX) ways.

20 Therefore the Lord was very angry(AY) with Israel and said, “Because this nation has violated the covenant(AZ) I ordained for their ancestors and has not listened to me, 21 I will no longer drive out(BA) before them any of the nations Joshua left when he died. 22 I will use them to test(BB) Israel and see whether they will keep the way of the Lord and walk in it as their ancestors did.” 23 The Lord had allowed those nations to remain; he did not drive them out at once by giving them into the hands of Joshua.(BC)

Footnotes

  1. Judges 2:5 Bokim means weepers.
  2. Judges 2:9 Also known as Timnath Serah (see Joshua 19:50 and 24:30)
  3. Judges 2:16 Or leaders; similarly in verses 17-19