Add parallel Print Page Options

(A)Abaana ba Isirayiri ne beebuuza nti, “Ani ku bika byonna ebya Isirayiri atazze kukuŋŋaana mu maaso ga Mukama Katonda?” Kubanga baali beerayiridde, ng’omuntu yenna alemwa okukuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa, ateekwa kuttibwa.

Read full chapter

20 (A)Isirayiri yenna okuva mu Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bategeera nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama.

Read full chapter

10 (A)okuggya obwakabaka ku nnyumba ya Sawulo, n’okunyweza entebe ey’obwakabaka eya Dawudi okufuga Isirayiri ne Yuda okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba[a].”

Read full chapter

Footnotes

  1. 3:10 Okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba ebigambo ebyo byakozesebwanga okulaga ensi ya Isirayiri gye yali ekoma, ng’eva mu bukiikakkono obw’ewala ennyo okutuuka mu bukiikaddyo obw’ewala ennyo

25 (A)Mu mirembe gya Sulemaani, Yuda ne Isirayiri yonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba buli muntu yalina emirembe, era ng’alina ennimiro ye ey’emizabbibu n’ey’emitiini.

Read full chapter

(A)N’addira ente bbiri, n’azitemaatema, n’aziwa ababaka ne bazitwala okubuna ensi yonna eya Isirayiri ng’agamba nti, “Buli ataagoberere Sawulo ne Samwiri, ente ze ezirima bwe zityo bwe zinaakolebwa.” Entiisa ya Mukama n’egwa ku bantu, ne bakuŋŋaana wamu n’omutima gumu.

Read full chapter

(A)Samwiri n’ayogera nti, “Mukuŋŋaanye Isirayiri yenna e Mizupa, mbegayiririre eri Mukama.”

Read full chapter