Add parallel Print Page Options

Danyeri Alaba Malayika mu Kwolesebwa

10 (A)Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka w’e Buperusi, Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’afuna okwolesebwa okulala. Ekigambo kye yafuna kyali kya mazima nga kyogera ku lutalo olw’amaanyi. N’ategeera obubaka obwamuweebwa mu kwolesebwa okwo.

Read full chapter

17 (A)Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi ng’akaaba, malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’asinziira mu ggulu n’amugamba nti, “Kiki ekikuteganya? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi w’ali.

Read full chapter

24 (A)Ekiro ekyo Mukama n’alabikira Isaaka, n’amugamba nti, “Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo, totya. Kubanga ndiwamu naawe, ndikuwa omukisa era ndyaza abaana bo ku lwa Ibulayimu omuddu wange.”

Read full chapter

(A)Katonda n’amugamba nti, “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo; totya kuserengeta Misiri, kubanga ndi kufuulirayo eyo eggwanga eddene.

Read full chapter

16 (A)Nnabbi n’addamu nti, “Totya kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.”

Read full chapter

Zabbuli ya Dawudi.

27 (A)Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
    ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
    ani asobola okuntiisa?

Read full chapter

10 (A)Totya kubanga nze ndi wamu naawe;
    tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo.
Nnaakuwanga amaanyi.
    Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”

Read full chapter

13 (A)Kubanga nze Mukama Katonda wo
    akukwata ku mukono ogwa ddyo,
nze nkugamba nti,
    Totya nze nzija kukuyamba.
14 Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi
    totya, ggwe Isirayiri,
kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo,
    Omutukuvu wa Isirayiri.

Read full chapter

29 (A)Nga weesiimye, Ayi Isirayiri!
    Ani akufaanana,
    ggwe eggwanga Mukama Katonda lye yalokola?
Ye ngabo yo era omubeezi wo,
    era kye kitala kyo ekisinga byonna.
Abalabe bo banaakuvuunamiranga,
    era onoobalinnyiriranga.”

Read full chapter

    (A)Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka,
    ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange.
Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange;
    ggwe ondokola eri abantu ababi.

Read full chapter

31 (A)Ekkubo lya Katonda golokofu,
    n’ekigambo kye kituukirira;
era ngabo eri abo bonna
    abaddukira gy’ali.

Read full chapter

(A)Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;
    ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.

Read full chapter