Add parallel Print Page Options

19 (A)N’aŋŋamba nti, “Ggwe omwagalwa ennyo, totya. Emirembe gibeere gy’oli, guma omwoyo era beera n’obuvumu.”

Awo bwe yayogera nange, ne nziramu amaanyi, ne njogera nti, “Yogera mukama wange, kubanga onzizizzaamu amaanyi.”

Read full chapter

28 Awo Gabulyeri n’alabikira Maliyamu n’amulamusa nti, “Mirembe! Ggwe aweereddwa omukisa! Mukama ali naawe!”

Read full chapter

11 (A)N’aŋŋamba nti, “Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera era osseeyo omwoyo ku bigambo bye njogera naawe, era yimuka oyimirire kubanga ntumiddwa gy’oli.” Awo bwe yayogera ebigambo ebyo gye ndi ne nnyimirira nga nkankana.

12 (B)N’alyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri, kubanga okuva ku lunaku olwasooka lwe wamalirira okutegeera ne weetoowaza mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa, era nzize olw’ebigambo byo.

Read full chapter

15 (A)“Noolwekyo bwe muliraba ‘eky’omuzizo eky’entiisa,’ nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu asoma bino ategeere,

Read full chapter